TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebibiina by'obwegassi biyiiseemu obuwumbi 2 mu bajeti ya 2017/2018

Ebibiina by'obwegassi biyiiseemu obuwumbi 2 mu bajeti ya 2017/2018

Added 24th April 2017

GAVUMENTI etadde obuwumbi bubiri mu bajeti ey’omwaka 2017/18 okusasula ku bbanja erigibanjibwa ebibiina by’obwegassi ebyayonoonerwa ebintu byabyo mu lutalo lw’ekiyeekera wakati wa 1981 ne 1986.

GAVUMENTI etadde obuwumbi bubiri mu bajeti ey’omwaka 2017/18 okusasula ku bbanja erigibanjibwa ebibiina by’obwegassi ebyayonoonerwa ebintu byabyo mu lutalo lw’ekiyeekera wakati wa 1981 ne 1986.

Ssente obuwumbi bubiri ziri mu bajeti ya Minisitule y’Ebyobusuubuzi, amakolero n’Obwegassi ey’omwaka 2017/18 ey’obuwumbi 110 n’obukadde 344.

Minisitule eno y’emu ku ttaano ezisembayo okufuna ssente entono mu bajeti y’eggwanga nga ku mulundi guno, obuwumbi 110 n’obukadde 344 Minisitule z’egenda okufuna mu bajeti ey’omwaka 2017/18 zikola ebitundu 0.39 ku 100 eza bajeti y’eggwanga lyonna ey’obuwumbi 28,252 n’obukadde 500.

Minisita Amelia Kyambadde yategeezezza palamenti nti obuwumbi bubiri bugenda kuliyirira ku bibiina by’obwegassi ebyayonoonerwa ebintu byabyo mu lutalo wabula teyalambise bibiina ki ebigenda okufuna ku ssente zino.

Ebimu ku bibiina by’obwegassi ebyakosebwa olutalo lwa NRA kuliko; Masaka Cooperative Union, Wamala Growers Cooperative Union, East Mengo Cooperative Union, West Mengo Cooperative Union, Banyankore Kweterana Cooperative Union n’endala.

Mu bajeti y’omwaka 2016/17, gavumenti yassaamu obuwumbi butaano, okuyamba okubbulula Masaka Cooperative Union mu mabanja g’etubiddemu kyokka tekinnamanyika oba ssente ezo aba baazifuna.

Kyambadde yategeeza mu July 2016 bwe yali e Nakaseke ku mukolo gw’okukuza olunaku lw’Obwegassi nti Gavumenti ezze edduukirira ebibiina by’obwegassi mu by’ensimbi n’amenya ekibiina kya Bugisu Cooperative Union (BCU) nti kyali kyakafuna obuwumbi 9 n’obukadde 120, Banyonkole Kweterana obuwumbi 2, East Acholi obukadde 400, ne Masaka Cooperative Union obukadde 350.

Mu bajeti ejja, minisitule eno yalangiridde nti enteekateeka ey’okuzza obuggya ebibiina by’obwegassi biddemu okutinta essira ligenda kussibwa mu bibiina 1,000.

Minisita Kyambadde yategeezezza nti omwaka guno 2016/17 Gavumenti yawandiisizza ebibiina by’obwegassi ebinene n’ebitono 1,352 nga kati wonna mu ggwanga, biwera 17,062.

Yagambye nti gavumenti ng’eri wamu ne Pulojekiti eya ‘Project for Financial Inclusion in Rural Areas’ (PROFIRA) wansi wa Minisitule ey’Ebyensimbi, etegeka okuwagira ebibiina by’obwegassi naddala ebibiina bya SACCO.

Ebibiina by’obwegassi 1,000 bye bigenda okussibwako essira mu bajeti ejja nga gavumenti egenda kubirondoola okukakasa nti biddukanyizibwa ku mateeka ag’Obwegassi era biwagirwe mu by’ensimbi n’engeri endala zonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...

Paasita Ssennyonga ng'agugumbula Yiga mu lukung'aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku kkansisa ye

Okufa kwa Yiga kusajjudde e...

AKATAMBI Pasita Ssenyonga ke yakutte nga Yiga tannafa kongedde okusiikuula abasumba ne beetemamu ng’abamu boogerera...