
Bya Maria Nakyeyune
ABATUUZE ku kyalo Nteete mu ggombolola y'e Lwebitakuli mu Disitulikiti y'e Ssembabule ge bakaaba ge bakomba olw'enkuba erimu kibuyaga esaanyizzaawo amaka gaabwe nga basigadde tebalina we basula.
Bano nga bakulembeddwamu Ssentebe we kyalo kino Emmanuel Kaseekende bakukkulumidde Ministry y'ebigwa tebiraze olw'okulemererwa okubayamba nga guno omulundi gwa kusatu nga balumbibwa omuyaga ogwaviirako ekizimbe ky'essomero okukuba abayizi ne baddusibwa mu malwaliro.
Emirundi ebiri egyasooka amaka 25 ge gaakosebwa ng'olwaleero Kibuyaga azzeemu okubagoya ng'amaka 5 gagudde ku ttaka olw'enkuba ebaddemu kibuyaga okugasaanyaawo n'ereka abatuuze 20 nga tebalina waakusula ne basaba abazirakisa n'omubaka waabwe Joseph Ssekabiito okubadduukirira.
Mu bakoseddwa mulimu abakadde, bannanyini bbaala, amaduuka n'amaka g'abantu nga waliwo n'omwana omuto eyalumiziddwa oluvannyuma lw'ebitaffaali okumugwiira ng'abatuuze abaawulidde enjega eno be baabagyee mu kizimbe