TOP

Kayihura atuuyanidde mu kakiiko ka Palamenti

Added 26th April 2017

Kayihura atuuyanidde mu kakiiko ka Palamenti

Kayihura

Kayihura

AKAKIIKO ka Palamenti akavunaanyizibwa ku by’okwerinda  ne nsonga z’omunda bakunyizza omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Gen Kale Kayihura ku by’okuttibwa kwa  AIGP Andrew Felix Kaweesi

Abadde mu kakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku nsonga z’omunda mu ggwanga ne by’okwerinda akakubirizibwa Judith Nabakooba (mubaka omukazi Mityana)

Muwanga Kivumbi (Butambala) agulumbizza akakiiko ng’ayagala okusoma amannya g’abasibe  abavunaanibwa mu kkooti ku by’okuttibwa kwa Kaweesi.

Agambye nti abasibe abaasimbiddwa mu kkooti  baakwatibwa dda ku ku misango emirala nga Kaweesi tannaba kuttibwa.

Judith Nabakooba akubirizza akakiiko agaanye Muwanga Kivumbi okusoma amannya kuba ensonga yabadde eri mu kkooti. Kyokka kino tekimatizza Muwanga n’amugamba nti asusse okubeera bannakyemalira nga tayagala bantu kwogera ku nsonga eziruma abantu.

Felix Kulayigye (mukiise wa magye) yeemulugunyizza olw'okubeera nga ttivi ezimu obwedda baweereza butereevu bye bateesa nga tebamanyi. Kyokka baamugambye nti tekimenya mateeka era n'akivaako.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzibizi wa Arsenal eyafun...

Tierney yafunye obuvune mu vviivi era asuubirwa okumala ebbanga eriwerako nga tazannya wabula Arteta agamba nti...

Bassita ba Leicester bameny...

TTIIMU ya Leicester eraze lwaki abazannyi baayo basatu baayo basatu tebaazannye mupiira gwa Premier, West Ham bwe...

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...

Fr. Dominic Kagoye  ng'akwasa Kironde (afukamidde wansi ) pikipiki gye baamutonedde,nnyina (mu gomesi) n'abaana be.

Omusomesa eyaziba amaaso ki...

Eyali Omusomesa wa Siniya okubala ne 'Physic's eyaziba amaaso mu ngeri eyewuunyisa ng'ali mu kibiina asomesa n'akubwa...