TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omwana asimattuse okusaddaakibwa alunyumya nga lutabaalo!

Omwana asimattuse okusaddaakibwa alunyumya nga lutabaalo!

Added 28th April 2017

Omwana asimattuse okusaddaakibwa alunyumya nga lutabaalo!

 Abagambibwa okwagala okusaddaaka omwana nga bali ku Poliisi ate mu katono Jovia Mbeyiza eyasimattuse ne kitaawe

Abagambibwa okwagala okusaddaaka omwana nga bali ku Poliisi ate mu katono Jovia Mbeyiza eyasimattuse ne kitaawe

ENTIISA ebuutikidde abatuuze b'e Kasokoso ku mwala ogwawula Mutungo Bbiina  oluvannyuma lw’abasowo abeeyita abaganda okubba omwana wa muliranywa waabwe Jovia Mbeyiza nga kirowoozebwa nti babadde baagala ku musaddaaka.

Maama W’omwana Rebecca Nakibuule agambye nti awulidde omuntu aleekaana ng'omwana we, bwafulumye wabweru omwana we waabadde anaabira nga taliiwo wabula asanzeewo ebbaafu y'amazzi n'empale n'akuba enduulu.

Abatuuze badduukiridde enduulu era babadde basaggula ensiko kwe kumulaba ng'ajja adduka n'abalombojjera  ne balumba abasawo abo babatte bebasanze bagenda mu kasiko webabadde batadde omwana,  era n'essabo lyabwe ne baliteekera omuliro.

Ebimu ku bintu ebisangiddwa mu ssabo eriyokeddwa

 

Ku basawo bano kubaddeko Ali Becker  ng’ono agambye omulimu gwe gubadde gwakusalako mutwe , ne Edrisa Mukasa ng’abalala abawera 3 okutegeerekeseeko Alex Lyagoba  batwaliddwa ku poliisi ye Mutungo n’oluvannyuma ne babongerayo ku jinja road poliisi.

Jovia Mbeyiza 12 abadde asomera ku Eden Primary school e Kasokoso agamba nti yabadde anaaba ekiro ku ssaawa emu eyakawungeezi ku mabbali g'ennyumba, maama we ng’ali mu nnyumba , yabadde atadde ssabbuuni mu mutwe kwekuwulira abantu abatambula emabega we, yagenze okulaba ng’abasajja bamubaka nga bamutwala n'alekaana.

Olwamutuusizza mu kasiko e Mutungo ne bagamba nti omwana azitowa nnyo tufune akakutiya bwe yabadde agezaako okuddamu okulekaana kwe kumujjirayo ebiso ne bamusuubiza okumusala singa awoggana era ne bamusiba kumuti omu n'amukuuma omulala abalala ne bavaawo okuleeta akakutiya.

 

Omulala gwe baaleseewo bwe yalabye bavuddewo naye n'agenda abanoneko, kwe kulaba omwana omulala omuto nga myaka 2 nga bateese wansi tayogera mu kasiko nga kumumwa gwe bataddeko soloteepu omuddugavu, n'atya era olwamulabye kwe kusimula enduulu n'entoloka n'enziruka.

Nasanze bazadde bange n'abatuuze basamba nsiko ne mbabuulira engoye zebabadde bambadde kwe kubagwako nga bakomyewo era olwabagobye ne baddukira mu ssabo lyabwe abatuuze kwe kwagala okubatta ne badduka ne bateekera n'essabo lyabwe omuliro.

Ssentebe w'ekitundu kino Haji Sulaiman Ssekigudde ategeezezza nti mu kitundu kino kino kati baakabulwawko abaana bana nebagezaako  okulanga ku maleediyo, ne kubizindaalo by'okukyalo tebalabika.

Agambye balina okwennyamira kw'amaanyi kubanga abasawo abo babadde tebamanyiddwa era nga n'ekitundu webali eringa mpuku toyinza kutegeera nti ssabo n'amannya gaabwe tewali agamanyi.

 

Poliisi ye Kasokoso ng’eri wamu ne Kireka badduse mangu ne bataakiriza abantu bano ababadde bayiggibwa obugo munsiko jebabadde bekwese ne bakuba amasasi mu bbanga abantu ne balyoka bagumbulukuka nga naye ennyumba abasamize mwe babadde basula ne ssabo baamaze dda okuliteekera omuliro.

Mu ssabo lino musangiddwamu obuwanga obulinga obwebisolo 4 n'ebifaananyi by'abantu ebingi ekireetedde abatuuze okulowooza nti nabo baabatta.wabula  abakwatiddwa  abakwatiddwa okuli   Alex

Lyagoba 14 ne Edris Mukasa 21 ne Ali Becker  bagambye mukulu waabwe gwe batayogera mannya ye nannyini ssabo.Babaguddeko omusango gw'okugezaako okusaddaaka omwana ku SD REF 02/28/4/2017 KU POLIISI E KASOKOSO

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...