TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Katikkiro akubirizza abalimi abato okulabira ku bayitimuse

Katikkiro akubirizza abalimi abato okulabira ku bayitimuse

Added 28th April 2017

Katikkiro akubirizza abalimi abato okulabira ku bayitimuse

 Katikkiro nga bamulaga emmwaanyi

Katikkiro nga bamulaga emmwaanyi

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga akubirizza abalimi bulijjo okuyigiranga ku bannaabwe abasingako okusobola okulinyisa omutindo gwebyo bye balima.

Bino Mayiga abyogedde alambula balimi mu ssaza ly’e Bulemeezi gye buvuddeko wamu n’okutongoza okusimba emmwaanyi okwomuggundu mu kitundu kino ekitwalira Disitulikiti okuli Nakaseke ne Luweero.

Mayiga agambye nti “ Musaanye okuyigira ku bannaamwe abasobodde okuyitimuka mu bulimi ate si kubatwatira buggya kyokka n’abayitimuse basaanye okugabana amagezi g’ebyobulimi n’abalala era temutya nti bwobulira ku munno enkola entuufu nti onalekeerawo okulima.”

 

Ng’akulembeddwa omwami w’essaza lino, Kang'aawo Freddie Ntege Ssekamere, Katikkiro alambudde abalimi okuli Steven Kizza e Kapeke nga wano alambudde emmwaanyi n’okusimba endala, ewa Lukooyamuntu e Nsanvu- Kasana, Kiwoko nga wano yasigudde emmwaanyi eziririddwa akawuka ssaako neewa George William Kiryowa e Kisoga byonna nga bisangibwa ku ggombolola y’e Kikamulo mu disitulikiti y’e Nakaseke.

Yawerekeddwako Minisita w’ettaka, Obulimi n’Obutonde bwensi, Ying. Martin Kasekende n’Omumyuka we Hajj Hamis Kakomo nga bano balaze obwetegefu bw’ekitongole kyabwe okutumbula obulimi nga bakulembeza ebirime bina okuli emmwaanyi, ebitooke,mawogo ne Lumonde.

Okusinziira ku Badru Sserwadda nga y’akulira ekitongole ky’Obwakabaka ekitumbula Obulimi n’embeera z’abantu ekya BUCADEF, bagenderera okulaba ng’essaza ly’e Bulemeezi lisimba emmwanyi ezisukka akakadde ng’emu kun kola y’Obwakabaka okugaggawaza abantu.

 

Sserwadda yagambye nti “ Enkola eyitibwa EMMWAANYI TERIMBA yatongozebwa Katikkiro nga twagala abalimi mu sizoni eno esoose mu mwaka guno okusimba emmwaanyi obukadde butaano era buli alina wasobola okuteeka emmwaanyi, atuukirire ekitongole kino.”

Kangaawo yakunze abantu mu ssaza lino okwenyigira mu nkola eno era naasaba abaami okuyigiriza n’okujjumbiza abantu okunyikirira obulimi bw’emmwanyi saako n’emmere.

Abakulembeze mu kitundu kino okwabadde Ababaka ba Palamenti Syda Bbumba ne Sarah Najjuma, Ssentebe wa LC3- Kikamulo James Ssenteza, Omwami w’eggombolola eno Nkalubo Muloddokayi, Allan Mayanja Sipiika w’olukiiko lw’Abavubuka mu Buganda n’abalala betabye mu nteekateeka eno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...