TOP

Bataano be bavuganya ku kya Kyaddondo East

Added 29th April 2017

Bataano be bavuganya ku kya Kyaddondo East

 Omubanda wa Kabaka yoomu ku bazze okuvuganya ku kifo kya Kyaddondo East

Omubanda wa Kabaka yoomu ku bazze okuvuganya ku kifo kya Kyaddondo East

ABANTU bataano be beesowoddeyo okuvuganya ku kifo ky’omubaka wa Kyaddondo East ekibaddemu Apollo Kantinti, kkooti gwe yaggyeyo. Abeesibyeewo buli omu awera kuwangula era batandise n’okutimba ebipande.

Bukedde yasisinkanye abagenda okuvuganya: Apollo Kantinti (FDC) Yaabadde mu Palamenti okutuusa kkooti bwe yamuggyeeyo oluvannyuma lwa Sitenda Sebalu okudduukira mu Kkooti Enkulu ng’awakanya okulangirirwa kwe.

Yagambye nti ebizibu sibibye ng’omuntu era by’akakiiko k’ebyokulonda era yatandikiddewo okunoonya akalulu asobole okuddayo mu Palamenti. Agamba nti amazeeyo akaseera katono nga tasobodde kukolera bantu be n’asaba bamuwe omukisa addeyo abakiikirire.

Mawanda Nkunnyingi ku kkono ne Apollo Kantinti ku ddyo

 

Dr. Kizza Besigye ng’asula Kasangati mu Kyaddondo East, bwe yabadde mu kkooti nga basala omusango yategeezezza nga bw’agenda okulwana obwezizingirire okulaba nga Kantinti addayo mu Palamenti n’asaba abantu okuddaamu okumulonda kuba alina obusobozi.

Ssa longo SIRaje Kiwanuka mukwaya (DP) Ssentebe wa DP mu muluka gwe Kabubbu ng’abeera Manyangwa yatandise okutimba ebipande wadde ng’akakiiko k’ebyokulonda tekannaba kulangirira lunaku lwa kulonda.

Mukwaya yategeezezza nti agenda kuwandiikira Pulezidenti wa DP ng’amusaba amuwe olukusa okuvuganya ku kifo kino.. Yagambye nti ku bagenda okwesimbawo y’asinga okumannya Nangabo/Kyaddondo.

Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) Yeesimbyewo ku lulwe nga talina kibiina ng’abeera Magere mu Muluka gw’e Wampeewo. Yatandise okuyisa ebivvulu mu bitundu by’e Kasangati - Gayaza, Manyangwa nga bw’alangirira nga bw’agenda okwesimbawo.

Sitenda Ssebalu ku kkono ne Kiwanuka Siraaje ku ddyo

 

Yagambye nti ekimutwala mu Palamenti kuba asobola okutuusa obubaka bw’abantu nga bwe babumutumye kuba aludde ng’akolagana n’ebibiina eby’enjawulo nga kino kiraga nti tasosola mu bantu. Muwada Nkunnyingi Munnamateeka Muwada Nkunyingi, abeera e Kiteezi yeesimbyeewo ku lulwe.

Yagambye nti yasanyuse nga kkooti ogobye Kantinti mu Palamenti kuba yali abbye obuwanguzi. Yategeezezza nti ssinga banaamulonda ajja kusookera ku nguudo z’omu kitundu, ebyenjigiriza ng’ateeka Gavumenti ku nninga okulondoola enzirukanya y’amasomero g’agamba nti tegafiiriddwaako.

Sitenda Ssebalu (NRM) Sitenda yaliko omubaka wa Palamenti era ye yatwala omusango mu kkooti. Sitenda olw’awangudde omusango n’ategeeza nti ekiseera kituuse abantu be Kyaddondo East bafune omubaka abalumirirwa ng’alina obumalirivu. Yasabye abantu bamuyiire obululu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...

Basse owa S3 ne balagirira ...

ABATEMU babuzizzaawo omuwala owa S3 okuva mu maka ga bakadde be ne bamusobyako oluvannyuma ne bamutta, omulambo...

Luzinda

Desire Luzinda tatudde!

OMUYIMBI Desire Luzinda abamu gwe baakazaako erya ‘Kitone’ naye nno tatuula. Bwe yabadde agogera ku bulamu bwe...

Kenzo

KENZO: Ayambalidde abamulan...

BWE yatuuse ku bamuvuma olw’okusisinkana Pulezidenti Museveni n’okumulangira okulya ssente, Kenzo yakangudde ku...