TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ensonda ez'omunda ziraze ekitabula Muwanga Kivumbi ne Kato Lubwama

Ensonda ez'omunda ziraze ekitabula Muwanga Kivumbi ne Kato Lubwama

Added 29th April 2017

Ensonda ez'omunda ziraze ekitabula Muwanga Kivumbi ne Kato Lubwama

 Muwanga Kivumbi ku kkono ne Kato Lubwama ku ddyo

Muwanga Kivumbi ku kkono ne Kato Lubwama ku ddyo

EBIPYA ku lutalo lw’okuwanyisiganya ebigambo wakati w’ababaka Kato Lubwama (Lubaga South) ne Muwanga Kivumbi (Butambala) biraze ng’entalo zaabwe zirimu ebya ssente okuva mu banene. Obutakkaanya bw’abakulu bombi bweyolese mu kakiiko ka Palamenti ak’ebyokwerinda ku Lwokusatu, omuduumizi wa poliisi mu ggwanga ,Gen. Kale Kayihura gye yabadde ng’annyonnyola embeera y’ebyokwerinda mu ggwanga.

Abamanyi eby’omunda baategeezezza nti akakuku kaabwe kaludde. Kigambibwa nti lumu Muwanga Kivumbi baali bamukyazizza ku ttivvi emu ne bamubuuza ku nteesa ya Lubwama mu Palamenti. Mu kwanukula yagamba nti bwe baba boogera ensonga ez’amakulu tezeetaaga kuyingizaamu bintu bwe bityo. Kino kyanyiiza Lubwama n’alabula Kivumbi nti ne bwe luliba ddi alimukwasa n’amulaga nti musajja okutuusa bwe yasazeewo okumwambalira mu kakiiko ka Palamenti.

Obuzibu we bwavudde ye ssentebe wa kakiiko, Judith Nabakooba (mukazi/Mityana) okugaana Muwanga Kivumbi okusomera akakiiko amannya g’abasibe abaasimbiddwa mu kkooti ku by’okutemula AIGP Andrew Felix Kaweesi.

Yabadde agamba nti abasibe bano baali baakwatibwa dda mu kiseera we battira Kaweesi, nga n’emisango egyabasibisa gyanjawulo. Nabakooba yawanyisiganyizza ne Kivumbi (minisita w’e by’okwerinda mu Gavumenti y’oludda oluvuganya) ebisongovu nga Muwanga agamba nti ensonga gye yabadde ayogerako yabadde nkulu nga tebayinza kumala gagivaako nga tebaginogaanyizza.

Nabakooba yalemeddeko nti baabadde tebayinza kwongera kugyogerako ng’omusango guli mu kkooti.

Kato Lubwama yavudde mu mbeera n’atabukira Muwanga Kivumbi olw’obutassa mu banne kitiibwa. Yagambye nti mu mbeera nga Nabakooba amaze okusalawo ku nsonga, Kivumbi okugenda mu maaso n’okugyogerako yabadde tabazeemu babaka balala magezi.

Kino kye kyasirisizza Kivumbi, era Nabakooba n’ava ku nsonga ya Kaweesi n’alagira bagende ku nsonga y’okuyisa embalirira y’ekitongole kya poliisi ey’omwaka gw’ebyensimbi ogujja.

Oluvannyuma lw’olukiiko Kivumbi yategeezezza nti ab’e Lubaga South baalonda muwulunge amala galeeta katemba nga bateesa ku nsonga z’amakulu. Kyokka ne Kato Lubwama yamwambalidde n’ategeeza nti Kivumbi asussizza okwefuula ow’ekitalo n’okwerowoozaako yekka.

Yategeezezza nti Kivumbi aludde ng’amumanyiira n’okuyisa mu ssentebe Nabakooba amaaso ng’ayagala ababaka abalala bonna batambulire ku ky’ayagala. “Oyo Muwanga Kivumbi mwana ku nze, olw’okuba amanyi okuvuma agenda amanyiira buli muntu. Kyokka yanguddeko kuba namumazeemu amaalo, era sijja kulwana naye okuggyako okumukuba obukubi.” Kato Lubwama bwe yategeezezza.

BIRIMU EBY A SSENTE? Kyokka Muwanga Kivumbi yategeezza bannamawulire nga bwe waaliwo ababaka ba Palamenti abaasisinkana Kayihura ku Serena Hotel bwe baamala okukisalawo nti alina okujja mu kakiiko abeereko byannyonnyola.

Kyokka Kato yategeezezza nti akakiiko okusisinkana Kayihura si kivve, kuba bangi abazze bamusisinkana enfunda eziwera.

Yagambye nti ekizibu kya Kivumbi ayagala nnyo okuwoggana buli Kayihura lw’ajja mu kakiiko ng’ayagala amutiisetiise atere amuyite.

Muwanga Kivumbi yagaanyi okuddamu okwogera ku bya Kato Lubwama n’ategeeza nti alina ensonga enkulu ez’okukolako. Allan Sewanyana (Makindye West) obutakkaanya bw’ababaka yabuyise bwa bulijjo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abazimyamoto nga bazikiriza omuliro.

Akasattiro! Essomero likutt...

Wabaddewo akasattiro e Namungoona ku ssomero lya Golden Junior School, ebisulo by'abayizi bwe bikutte omuliro ebintu...

RCC wa Kawempe,  Dauda Kato ng'akwasa omu ku baserikale ebbaluwa, abalala nabo baasiimiddwa.

Abaserikale ba Reserve Forc...

RCC wa Kawempe omuggya Dauda Kato akubirizza abaserikale b'eggye  ezzibizi okutwala mu maaso empisa  ennungi ze...

Achen nga yaakamala okulongoosebwa essasi mu kabina mu ddwaaliro e Mulago.

Omusuubuzi eyakubwa essasi ...

OMUSUUBUZI eyakubwa essasi ne liwagamira  mu kabina alongooseddwa ne balimuggyamu. Harriet Achen 37 omusuubuzi...

Colin Asiimye Kitunzi wa Multichoice ng'annyonnyola

Aba Multi choice baddizza k...

ABAKUNGU ba kampuni ya "MultiChoice basaze emiwendo gy'empereza yaabwe n'ekigendererwa kyokuyamba  bakasitooma...

Abakungubazi mu kuziika omutaka Kavuma Kaggwa.

Omutaka w'e Kyaggwa aziikiddwa

'Kavuma Kaggwa abadde musajja ow’ensa era awa abantu abalala ekitiibwa.'