TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi egudde mu lukwe lw'abebijambiya ababadde bategeka okulumba e Mpigi

Poliisi egudde mu lukwe lw'abebijambiya ababadde bategeka okulumba e Mpigi

Added 2nd May 2017

Poliisi egudde mu lukwe lw'abebijambiya ababadde bategeka okulumba e Mpigi

 Poliisi ng'eraga ebimu ku bijambiya n'emiggo bye yasuuzizza abaabadde bateekateeka okukola obulumbaganyi mu bitundu by'e Mpigi

Poliisi ng'eraga ebimu ku bijambiya n'emiggo bye yasuuzizza abaabadde bateekateeka okukola obulumbaganyi mu bitundu by'e Mpigi

POLIISI ye Mpigi egudde mu lukwe lw’abebijambiya ababadde balumbye ekyalo ne babasuuza ebijambiya bye babadde bazze nabyo n'embuukuli z'imiyini wabula oluzudde nti babaguddemu ne badduka.

 

Okusinziira ku adduumira poliisi e Mpigi Ahmed Kimera SSeguya ategeezezza nti abazigu bano balabiddwa omusirikale akuuma ku kkolero lyamazzi e Nakirebe nga balina bye bakukusa mu nsiko ekiro kyokka bwe yagezezaako okwetegereza ne bamulaba ne badduka ekyamuwalirizza okutemya ku poliisi ye Nakirebe n'ekola omuyiggo okukakkana nga bagudde ku ntuumu y'ebijambiya n'emiggo eminene gye babadde bakwese mu nsiko.

 

Ayongerako nti abasajja bano balabika baabadde banji era nti poliisi
etandise okubayigga mu bitundu bya Mpigi yonna okulaba nga bakwatibwa bavunaanibwe ku bikolwa by'okugezaako okutemula.

Abatemu bano bandiba nga babadde beetegekera kulumba kitundu
okusinziira ku ntekateeka ze babaddeko nga babajjizza bulungi emiyini nga n'ebijambiya biringa ebyakagulwa poliisi bwetyo bwetegezeza.

 DPC Kimera asabye abatuuze okubeera abakalabalaba nokukolaganira wamu ne poliisi okugiwa amawulire agakwata ku batemu bano basobole okukwatibwa.

Ebissi bino polisi ebigyeeyo mu nsiko nebitwalibwa ku kitebe kyayo
eMpiggi eMpigi nga okunonyereza bwekugenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...

Poliisi ng'eri e Ssembabule okukkakkanya abalonzi ba NRM mu kamyufu gye buvuddeko

Abantu 45 be baafiiridde mu...

ABANTU 45 be bafiiridde mu buzzi bw’emisango obubaddewo wiiki ewedde obulese abalala 33 mu makomera.

Robert Kyagulanyi Ssentamu

DPP yeddizza omusango gwa K...

KKOOTI eggye enta mu musango gw'okulimba emyaka, munnamateeka Hassan Male Mabiriizi gweyawaabira omubaka wa Kyadondo...

Gav't etaddewo obukwakkuliz...

GAVUMENTI etegeezezza nti abasuubuzi abaagala okuddamu okusuubula ebintu ebiva n'okutwaliribwa mu mawanga g'ebweru...