
OMUVUBUKA eyatunda piki piki ya mukama we n'agamba nti bagimubbyeko poliisi emukutte ng'aguze eyiye.
Obed Banyezaki 25 omutuuze w'e Makerere Kikoni nga muvuzi wa Boda Boda mu Kikoni ye yakwatiddwa poliisi y'oku luguudo lwa Northern by pass ku Kaleerwe oluvannyuma lwa mukama we Gerald Ssewagudde omutuuze we Nansana Ganda okumuloopa nga bwe yakozesa olukujjukujju ne yefuula gwe babbyeko piki piki gye yamuwa okuvuga nnamba UDY 326R ng'eno yagivugira emyezi ena.
Banyenzaki nga 22/December omwaka oguwedde yategeezza mukama we nti piki piki bagimubbyeko n'agenda ne poliisi n'aloopa omusango nga kino Ssewagudde yasooka n'akikakasa era teyamusiba wabula oluvannyuma kyategeerekese nti Banyezaki piki piki tebaagimubbako yagitunda ssente ezavaamu n'agulamu eyiye .
Banyezaki yategeezezza nti kituufu piki piki baagimubbako ng'eno gye baamukutte nayo eriko omugagga omulala gwe yagambye nti ye Anthony Habaho eyagimuwa akole we baamukwatidde yagasseko nti Piki piki ya Ssewagudde yali amusasula emitwalo 6 buli wiiki , Omusango guli Fayiro nnamba SD REF:16/14/04/2017