TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ezimu ku nsonga eziremesa abakazi abafi iriddwa abaami okuddamu okufumbirwa

Ezimu ku nsonga eziremesa abakazi abafi iriddwa abaami okuddamu okufumbirwa

Added 3rd May 2017

Ezimu ku nsonga eziremesa abakazi abafi iriddwa abaami okuddamu okufumbirwa

 Christipher Ssejjobyo yawasizza Paasita Evon Ssejjobyo gye buvuddeko. Evon ya irwa bba Paasita Mugerwa emyaka etaano egiyise.

Christipher Ssejjobyo yawasizza Paasita Evon Ssejjobyo gye buvuddeko. Evon ya irwa bba Paasita Mugerwa emyaka etaano egiyise.

OLUMU ku nnyiriri abagole ze basoma nga balayira okuyingira obufumbo obutukuvu mulimu nti, “..okutuusa okufa lwe kulitwawukanya...” Naye wali weefumiitirizzaako obulamu bwe bubeera ng’ekyo kimaze okutuukirira, ηηamba nga munno avudde mu bulamu bw’ensi eno?

Ku ludda lw’omusajja wadde waliwo abafuna obuzibu okufuna omulala gw’azza mu kifo kya munne, naye era oluvannyuma kyangu okufuna omulala. Ate abalala oluusi abeerawo ne gw’alina awo ku bbali kale embeera n’etemukaluubirira nnyo.

Wabula ku ludda lw’omukazi afuuse Namwandu embeera ebiseera bingi tebeera nnyangu. Abakyala bangi bafunye okukaluubirirwa obulamu nga bamaze okufi irwa abaami ng’ekimu ku bisinga okubakalubirira kwe kulwanyisa erinnya ly’obwa ‘Namwandu’ wamu n’okuddamu okutambuza embeera y’omukwano.

Edith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abaagalana annyonnyola engeri omukyala afi iriddwa omwami bw’olina okutambuzaamu obulamu bw’omukwano oleme kukosebwa mbeera kubanga teri bulumi bwenkanankana buno.

Abantu bangi balina endowooza nti omukyala bw’afi irwa omusajja tekinyuma kuddamu kufumbirwa naye ekyo kikyamu. Ekimu ku biyamba omukazi okuddamu okutambuza obulungi obulamu kwe kufuna omubeezi omulala.

 

EBBANGA LY’OSAANIDDE OKUMALA NGA TONNADDAMU KUFUMBIRWA

Tekiriiko bbanga ggere omukyala ly’asaanidde kugoberera alyoke addemu okufuna omubeezi omulala. Wabula kisinziira ku buvumu bwa muntu, obuvumu buli ku bbanga ly’osobola okutwala okutereereramu.

Olwokuba obulumi ku mutima buba bwa maanyi osaanidde okutwala akabanga akawerako okusobola okuguma olyoke otandike okulowooza ku ky’okuddamu okufuna omubeezi omulala. Naye mu bbanga nga lya mwaka gumu omuntu yenna aba amaze okutereera mu mwoyo nga mu bufunze amaze okukungubaga. Mu bbanga eryo osobola okufuniramu omuntu n’otandika okumwekkaanya naye eky’okumufumbirwa kirina emitendera gye mulina okusooka okugoberera.

OKIKOLA OTYA NG’OLI NNAMWANDU OW’ABAANA

Ssinga omwami aba yakuleka ng’olina abaana eno nsonga nkulu nnyo ng’ogenda okuddamu okufumbirwa. Abaana bwe baba bakulu nga basussa emyaka 18 osaanidde okubayingiza mu nsonga eno kubanga babeera mpagi nkulu nnyo anti basobola okukulemesa obufumbo obulala ssinga tokolagana nabo mu mbeera eyo nga tonnagitandika.

Bwe baba bawerako enkola entuufu yandibadde ya kusooka kwogerako n’omu kw’omu wabula si kubagamba lumu. Bw’omala okubamalayo olwo n’olyoka obakuηηaanya n’okibagamba nti olinayo omuntu gw’oyagala okutambuza naye obulamu afuuke kitaabwe. Ekirungi ekiri mu kusooka okwogera n’omu kw’omu kiyamba nti lw’obakuηηaanya okukibagamba tekiba kipya mu matu gaabwe era bakuwagira mangu kuba bakiraba nti maama yatussaaamu naffe ekitiibwa newankubadde nga baana be.

Bw’omala okukyogeramu n’abaana ne bakkiriza olwo ate ng’okizza eri munno gw’ofunye olwo mwogere ku nsonga y’abaana bano. Bwe baba bato okugeza nga bakyasoma, olina okwogeramu naye ne mutegeeragana oba anaakuyamba ku baana oba nedda n’ensonga endala. Mulina era okuteesa ku ky’okuzaala ne musalawo oba muddamu okuzaala oba nedda n’omuwendo gwe mwandizadde era n’endabirira yaabwe bw’enebeera.

Nga mumaze okuteesa ku ky’okuzaala mulina okuteesa ku kukolerera abaana bano. Abaana be musuubira okuzaala mulina okubakolerera ebintu ebyabwe, eno y’ensonga lwaki kyandibadde kirungi ne mufuna amaka agataliiko nnannyini ku mwembi mwe muba muzaalira abaana abo bakule nga balina ebintu ebyabwe obutaboolebwa bannaabwe n’obutaleetawo nkaayana mu baana abo.

OMUKYALA EYASIGALA MU MAKA AKIKOLA ATYA? Ekisinga okuba ekirungi, bw’oba osazeewo okuddamu okufumbirwa kyandibadde kirungi n’oteesa ne munno gw’ofunye ne mufuna amaka ag’enjawulo nga si ga mukyala ate ng’omwami munno togenda kumutwala mu maka agaalimu omukazi omulala, naddala ng’akyali mulamu, oba nga mulimu abaana.

Musobola okusalawo ne mupangisa ennyumba oba bwe wabaawo obusobozi ne muzimbayo ennyumba.

By’olina okugoberera ng’ofuna omulala

Kino kiyamba okumalawo emberebezi okuva mu baana okujooga omu ku mmwe abeera agenze mu maka g’omulala. Okwewala embeera y’omu ku mmwe okwefuulira munne mu maaso eyo kubanga abantu bulijjo bakyuka oli ayinza okwagala okwezza ebintu byo kale bwe mufuna amaka muba ng’abafumbo abapya ne mutandika.

Era kibayamba mwembi okubeera abatebenkevu ku mitima nga buli omu amanyi nti we muli wammwe babiri. Kyandibadde kirungi ne mugenda mu mateeka ne mufuna ekiyitibwa “Prynne up” oba kiyite entegeeragana ku bintu oba ebyobugagga.

Kiba kirungi buli omu n’aba n’obwannannyini ku by’obugagga bye mu mateeka ne kitaleetawo kutabuka gye bujja ssinga wabaawo afunyemu omutima okwagala okwekyusizza munne.

Wabula tewali tteeka ligaana mukyala kuleeta mwami mu maka ago ssinga oba osazeewo nga bw’okyagala wabula ky’osaanidde okuteeka mu bwongo bwo era n’okigumira nti omwami gw’oleeta agenda kubeera mwami wo era y’agenda okubeera omukulu w’amaka ago. Muyise ng’omwami ate naawe omwami otuukirize obuvunaanyizibwa mu maka ago bwonna.

BY’OSANYE OKUGOBERERA NG’OFUNA OMWAGALWA OMUPYA Omusajja alina abaana aba mulungi okufumbirwa. Ekirungi ky’ono aba tagenda kukulumya mutwe nga yeeyigaanya abaana bo kubanga naye abeera alina ababe nga yeetaaga naawe omwagalire ababe kale bw’ofuna omwami bwatyo embeera eba ejja kwanguwa.

Osaanidde okwewala omusajja omufumbo. Olw’okuba nti obeera olina ebiwundu by’omukwano, weetaaga omuntu anaabeerawo w’omwetaagira okusobola okukubudaabuda obulungi odde amangu mu mbeera. Bw’ofuna omufumbo alina mukyala we, aba ajja kukuwaamu obuzibu kubanga oyinza obutamufuna bulungi nga bw’omwetaaga.

EBIREMESA ABAKYALA OKUDDAMU OKUFUMBIRWA Emirundi egisinga buli mukyala aba ayagala okuddamu okufuna omwami omulala naye ensonga eremesa abamu kuba kutya kuswala.

1Abantu bamanyi nti omukyala talina kuddamu kufumbirwa ng’afi iriddwa omwami ekyo ne kitiisa abamu.

2 Ate abalala ekibagaana batya abantu kye banaabalowooleza nga bamanyi nti bayinza okuboogerako nti balina omukono mu nfa y’abaami baabwe n’ebirala.

3 Abalala tebaddamu kufumbirwa olw’okwesiba mu bulamu bw’ekifaananyi ky’abaami baabwe.

4 Abamu basalawo obutava mu maka gaabwe nga mwe baagala okukuliza abaana baabwe, kale ate nga tasobola kuleetamu musajja kubanga kibeera tekirabika bulungi.

Abalala basalawo obutaddamu kufumbirwa olw’obutayagala kufuna buvunaanyizibwa bulala, ate ng’oluusi baba balina abaana ababawummuza ebirowoozo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Basindikiddwa mu kkomera lw...

ABAASANGIBWA n’ebyambalo bya UPDF basindikiddwa mu kkomera.

Abaleppuka n'ogwokulya mu n...

KKOOTI yamagye e Makindye yejjeerezza abajaasi bataano ababadde bavunaanibwa okukola olukwe okuvuunika gavument...

Nuwashaba (ku kkono) lwe baamultwala ku kkooti okukola siteetimenti. Ku ddyo ye mwana Kyamagero eyattiddwa

Nuwashaba alaze bwe yafuna ...

OMUSAJJA gwe baakutte n’omutwe ku Palamenti ayogedde engeri gye yaweebwa ddiiru y’okusala omutwe gw’omwana n’alumiriza...

Nagirinya eyattibwa

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...