
Ebifaananyi ebiraga Maama Fiina ne Hajji Kiyimba.
Agenda kuwoowebwa ne Hajji Abbas Kiyimba- Ssentebe wa Kyengera Town Council era Ssentebe wa NRM owa Wakiso Disitulikiti.
Sofia Namutebi (Maama Fiina) ye “Hakki” ya Kiyimba nnamba nnya. Obusiraamu bukkiriza omusajja okuwoowa abakazi abasukka ku omu kyokka nga tebasukka bana kasita aba n’obusobozi.
Kiyimba alina abakyala Hajat Kudra Kiyimba abeera e Kyengera, alina omukyala w’e Busega mu maaso g’essundiro ly’amafuta erya Petro City; omukyala omulala abeera Bulenga nga kigambibwa nti amuzimbira Katereke.
Kiyimba alinayo n’amaka amalala e Maya. Maama Fiina ne Kiyimba bategeka kuwoowebwa Kibuli.
Kyokka ng’akakiiko akateesiteesi kakyalowooza ku ky’okukyusa omukolo bawoowebwe e Nsangi okutaasa abantu okuva mu Nsangi (Kiyimba mututumufu nnyo e Nsangi ne Wakiso) bagende e Kibuli ate bakomewo e Nsangi awategekeddwa omukolo gw’okugabula.
Kyokka Hajji Kiyimba yategeezezza Bukedde ku ssimu nti ye ne Maama Fiina baludde nga baamukwano. Osanga ababalaba bombi we bava okulowooza nti baagalana.
“Bwe kiba kituufu nga bagenda kutuwoowa, mulinde batuwoowe mukakase nti twagalana,” bwe yategeezezza. Omukwano gwa Maama Fiina ne Hajji Kiyimba gwasinga kumanyika mu February 2017, Maama Fiina bwe yatandika okwetikka emmere n’agitwala mu ofiisi ya Kiyimba buli lunaku n’amugabula ekyemisana.
Abakozi ku ofiisi ya Kiyimba batenda Maama Fiina ekisa kubanga bonna ababegera emmere n’abagabula buli lw’atwalira Hajji ekyemisana.
Omu ku bakozi ba Hajji Kiyimba yategeezezza Bukedde nti ku Paasika, Maama Fiina yabagabidde buli omu 500,000/- bagende beesanyuse.
Maama Fiina yafiirwa bba, Maj. Muhammed Kiggundu eyatemulwa nga November 26, 2016.
Kiggundu ne Kiyimba baali baamukwano. Kiggundu bwe yafa, Kiyimba yawaayo omuwendo okubeeranga ewa Maama Fiina e Bulenga ng’amugumya mu biseera by’okukungubaga. Kirowoozebwa nti wano we baatandikira omukwano.
Maama Fiina abadde assa ebifaananyi bye ne Kiyimba ku mukutu gwe ogwa Facebook.
Kyokka mu February yatandise okulabika naye mu lujjudde naddala ku mikolo omuli enkuhhaana z’ebyobufuzi eza Kiyimba. Hajji Kiyimba bw’asituka okwogera awa Maama Fiina omuzindaalo n’abaako by’ayogera.
MAAMA FIINA TEWALI KIMUKUGIRA KUFUMBIRWA
Maama Fiina talina musajja oluvannyuma lw’okufa kwa Maj. Kiggundu.
Yasooka kufumbiriganwa ne Hajji Ismail Ssekidde mu 2004 kyokka ne baawukana mu 2014.
Ekirala Hajji Ssekidde yali asussizza okuwa amateeka ku nkozesa ya ssente.
MAJ. KIGGUNDU
Maama Fiina yategeezezza Bukedde oluvannyuma lwa Maj. Kiggundu okuttibwa nti yasooka kumukwana mu 2002, kyokka n’asooka amutya kuba yali mujaasi.
Baddamu okusisinkana mu 2011. Mu 2012 bakkiriziganya ne baagalana era ne bawoowebwa mu nkukutu mu February wa 2013.
Sheikh Habib Kagimu yabawa amagezi bagattibwe mu lwatu, ne bakola embaga mu 2015 mu muzikiti e Kibuli.