TOP

Maama Fiina ayogedde bye yasiimyeku Kiyimba

Added 6th May 2017

Maama Fiina ayogedde bye yasiimyeku Kiyimba

 Maama Fiina

Maama Fiina

SOFIA Namutebi amanyiddwa nga Maama Fiina agambye nti ebigambo abantu abamu bye boogera tebimuyigula ttama kuba akimanyi bulungi nti buli mukyala yeetaaga okuba n’omwami amukuuma era nga kino akirabira ddala ng’ekitiibwa okuba nga yafunye Hajji Abdu Kiyimba ssentebe w’eggombolola y’e Nsangi.

Yagambye nti yalabagana ne Kiyimba mu 1996 era okuva olwo abadde mukwano gwe era nga bakolagana mu bintu bingi. Mu ssaawa y’okukungubagira Maj. Kiggundu, Kiyimba yalabibwa nnyo ng’ali ku lusegere lwa Maama Fiina ng’amugumya.

Kiyimba musajja eyeewa ekitiibwa ate ng’amanyiddwa nnyo mu ggwanga. Ng’oggyeeko okubeera ssentebe wa Kyengera Town Council, ssentebe wa NRM mu disitulikiti y'e Wakiso, kyokka ne mu nsonga z’Obusiraamu azibeeramu nnyo.

Yategeezezza nti okufaanaganako ne Hajji Kiyimba bonna bantu ba bantu era nga bakoze bingi nga bayamba abantu abali mu buzibu. Ayambala bulungi era alimu eddiini ng’okubeera naye afunidde ddala omusajja atuukiridde. Yagambye nti tewali muntu asaanidde kumunenya kuba ekyatuuka ku bba buli muntu yakiraba.

Yagambye nti yabadde tayinza kubeera mu bwenzi ng’alina okufunayo omusajja omulala amubeesabeesa. Maama Fiina yasekeredde n’abamwogerera nti atwalira Hajji Kiyimba ekyemisana mu ofiisi, n’agamba nti ye mukazi eyabuulirirwa.

Yagambye nti omusajja yenna ng’atuukiriza obuvunanyizibwa bwe, abeera alina okufiibwako. Bakazi ba Haji Kiyimba, Maama Fiina yabagumizza nga bwatazze kubatwalako bbaabwe, wabula omukwano omungi gw'alina n’omuntu waabwe gwe gumuleese. Yasuubizza okukolagana obulungi nabo era n’abasaba baleme kumweraliikirira.

Hajji Abbas Kiyimba yasinzidde Kyengera Country Resort n’ategeeza bakansala b’e Nsangi b’akulira nti ekintu kye yakoze ssi kivve, kuba ye musajja Musiraamu akkirizibwa okuwasa omukazi asukka mu omu. Yagambye nti Maama Fiina wa Mmamba ate ye yeddira Mpologoma nga n’obuwangwa bubakkiriza okubeera bombi.

Yasuubizza nti ekiseera bwe kinaaba kituuse ajja kubanjulira enteekateeka zonna mu bujjuvu. SHEIKH AWAGIDDE MAAMA FIINA Sheikh Muhammod Kibaate, amyuka Suprem Mufti era eyawoowa Maama Fiina ne Maj. Kiggundu mu muzikiti e Kibuli yagambye nti abantu balina okukimanya nti Kiggundu yafa ate Maama Fiina mulamu. Kino kiba kitegeeza nti alina obulamu, ate nga n’amateeka g'eddiini galagira omukazi okuddamu okufumbirwa oluvannyuma lw'emyezi ena ne nnaku kkumi.

Yasabye abantu obutakiraba bubi. Sheikh Sulaiman Sulaiman Guggwa yayozaayozezza Maama Fiina ne Haji Kiyimba n’agamba nti omugole omukazi alina ebisaanyizo byonna Nabbi Muhammad (SAW) bye yalagira abantu okwegomba ku mukazi.

Yagambye nti yalagira abasajja okuwasa abakazi olw'ensonga nnya okuli; obulungi, okubeera ne ssente, famire ennungi n'eddiini. Bino byonna yagambye nti, bino ebisaanyizo Maama Fiina ebirina.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...