TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kawempe eyolekedde okulumbibwa endwadde eziva ku bucaafu

Kawempe eyolekedde okulumbibwa endwadde eziva ku bucaafu

Added 9th May 2017

Kawempe eyolekedde okulumbibwa endwadde eziva ku bucaafu

 Obwama nga bukwata mu mazzi amacaafu

Obwama nga bukwata mu mazzi amacaafu

OBUCAAFU Obufumbekedde mu bitundu by'e Kawempe bwewanisizza abatuuze emitima olw'okutya okulumbibwa endwadde eziva ku bucaafu.

 

Omu ku batuuze ategeerekeseeko erya Jane Namuddu owe Bwaise ategeezezza nti abaana n'abantu abakulu balwala embuto ng'era kati abamu ku bazadde basazeewo okusibira abaana baabwe mu mayumba okusobola okubatangira enddwadde zebayinza okufuna okuva mu bucaafu.

 

Namuddu ategeezezza nti bwekibeera nga ddala kituufu abakulembeze babalumirirwa basaba okuviira ddala ku mubaka wa Kawempe North Latif Ssebaggala Ssengendo, owa Kawempe South Mubarrak Munyagwa ssaako ne mmeeya Sserunjogi bakwate ku musaala gwabwe okumala emyezi esatu baziweeyo okuyamba okukulaakulanya munisipaali ye Kawempe.

 

Ebimu ku bitundu ebisinga okubeera mu mbeera embi kuliko Makerere III, Mulago, Kazo Angola, Bwaise III, ssaako ne Wandegeya.

 

MEEYA AYOGEDDE

Emmanuel Sserunjogi Mmeeya we Kawempe ategeezezza nti kituufu Kawempe mucaafu naye ensonga eva ku bikozesebwa okubeera ebitono mu kitongole kya KCCA ssaako n'abantu obutafaayo mu kweyonja ne baagalanga okulinda abakulembeze baabwe.

 

Ayongedddeko nti waliwo abantu abamu abakwata kasasiro ne bamusuula mu myala nga bakigenderedde era nga bino bye bimu ku bintu ebisinga okusaasaanya obucaafu.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

UNEB ewadde abayizi wiiki 5...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ewadde abazadde n’abayizi omwezi gumu okusasula ssente z’ebigezo n’okwewandiisa okukola...

Trump ne Biden

Omugagga asasulidde abasibe...

OMUSAJJA bifeekeera, omu ku basinga obugagga mu Amerika akutte doola obukadde 16 n’asasulira abasibe 32,000 engassi...

Abawagizi ba Rukutana nga bajaganya

Engeri ebya Rukutana gye bi...

EBY’OBULULU bw’e Rushenyi bikyuse minisita Mwesigwa Rukutana bw’alangiddwa ng’eyawangudde akalulu k’essaza lino...

Omuyimbi Pia Pounds yeekokk...

Sheilah Gashumba kirabika kati ye yeekwatiramu mu kukuba ebifaananyi

Malokwezza ne mukazi nga bajaganya

Tofiri Malokweza (92): Ayog...

Bw’OLABA omuntu ow’emyaka 92 tolemwa kutendereza Katonda ate ng’eno bwe weebuuza ekyama kye ekimusobozesezza okuwangaala....