TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abalala musanvu bavunaaniddwa okutta Kaweesi ne batwalibwa e Luzira

Abalala musanvu bavunaaniddwa okutta Kaweesi ne batwalibwa e Luzira

Added 11th May 2017

Abalala musanvu bavunaaniddwa okutta Kaweesi: Kuliko ne Hajjat

ABANTU abalala 7 bagattiddwa ku musango gw'okutta eyali omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Andrew Felix Kaweesi, omukuumi we Kenneth Erau ne ddereeva we, Geofrey Mambewa.

Bano basimbiddwa mu maaso g'omulamuzi wa kkooti ento e Nakawa, Noah Ssajjabbi ne basomerwa emisango etaano okuli ; egy'obutemu esatu, obutujju n'okubba emmundu bbiri; pisito ne SMG eza Erau.

Omulamuzi Ssajjabbi abategeezezza nti wakati w'omwezi gwa January ne March beenyigira mu bikolwa eby'obuyeekera mu bitundu bya Wakiso, Mukono, Mbarara n'ebitundu ebirala eby'aviirako okuttibwa kwa Kaweesi.

Olumaze okubasomera emisango n'ategeeza nti talina buyinza kubawozesa era tabaganyizza kubaako kye boogera n'alagira batwalibwe e Luzira bagattibwe ku 13 abasookayo, n'alagira bakomezebwewo nga March 18.

Omuwendo gw'abasibe abaakaleetebwa mu kkooti guweze 20 wabula nga waliwo abalala babiri abataleeteddwa olwaleero, omuwaabi wa Gavumenti Rachael Nabwire n'asaba nabo baleetebwe era omulamuzi Ssajjabbi n'alagira nabo baleetebwe nga 18.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku baddusi nga boogera n'abaserikale. (Ekif. Ddamba Tadeo)

Poliisi eremesezza ab'e Kir...

Poliisi mu Kira Municipality eremesezza abantu abaabadde bakedde okwetaba mu misinde gy’amazaalibwa ga Ssaabasajja...

Mukyala wa Lukwago n'abaana baabwe.

Omusuubuzi w'e Bugoloobi ey...

ABOOLUGANDA lwa Martin Lukwago omu ku basuubuzi mu katale k'e Bugoloobi abaakwatibwa ebitongole by'ebyokwerinda...

Abantu nga bakonkomalidde awaagudde ekimotoka.

Balaajanidde poliisi ku loo...

Abatuuze b'e Luseera - Kateera e Kiboga balaajana olw'ekimotoka ekizibye ekkubo lyabwe nga kati kimaze wiiki nnamba...

Ssentebe wa LC V e Buyende Robert Ziribasanga ng’alambuza ababaka ba palamenti woodi y’abakyala etaggaddwaawo.

Eddwaaliro ly'e Kamuli ekku...

Eddwaaliro ly'e Kamuli ekkulu erijjanjaba abalwadde abasoba mu 3,000, liggaddwaawo oluvannyuma lw'abasawo 24 okusangibwa...

Amaka ga bazadde ba Lukwago e Kabungo.

Batidde bazadde ba Lukwago ...

ABOOLUGANDA lwa Loodi Meeya Ssaalongo Erias Lukwago abaasangiddwa e Kabungo mu ggombolola y'e Kyamuliibwa e Kalungu...