TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Famire y'omugenzi Felix Kaweesi etadde Gavumenti n'abaakola entaana ku nninga!

Famire y'omugenzi Felix Kaweesi etadde Gavumenti n'abaakola entaana ku nninga!

Added 17th May 2017

Famire y'omugenzi Felix Kaweesi etadde Gavumenti n'abaakola entaana ku nninga!

 Abamu ku ba Famire ya Kaweesi nga bakung'aanidde ku ntaana ye

Abamu ku ba Famire ya Kaweesi nga bakung'aanidde ku ntaana ye

Bya Florence Tumupende ne Pascal Lutabi

AB'OLUGANDA lw’omugenzi AIGP Andrew Felix Kaweesi balaze obutali bumativu ku ngeri poliisi gy'ekozeemu akasoobo mu kunoonyereza abatemu abaatemula omuntu waabwe.

Bino babyogedde bwe babadde  bakola bulungibwansi gwe baatandikawo owookukolebwanga buli nnakuzamwezi 17 buli mwezi olw'okujjukira omwoyo gw'omugenzi eyakubwa amasasi mu mwezi gw'okusatu bwe yali ava mu makaage e Kkulambiro ssaako n'omukuumi we ne ddereeva we.

Famire y'omugenzi ng'ekulembeddwaamu Vincent Kaitana, Phinah Bagenda wamu ne Leo Ruhinda bakubye ebituli mu kunoonyereza kwa poliisi kwezze ekola okuviira ddala omugenzi lwe yattibwa nga bagamba nti ku bantu bonna abazze bakwatibwa omuli n'abaana abato bbo bakimanyi nti ssi kwekuli abatta omuntu waabwe era bbo bakkiriza nti eyatta omuntu waabwe Poliisi emumanyi bulungi.

Bano mu ngeri yeemu balumbye n’ekitongole kya Funel Service ekyakola ku by’okuziika kwa Kaweesi naddala ku ntaana omwagalamizibwa omubiri gw’omugenzi gye baaleka nga kyangaala nga mu kiseera kino eyitamu amazzi era nga wano webasinzidde ne bawa ekitongole kino ebbanga lya wiiki emu nti singa tebajje kuteteereza ntaana eno bagenda kuddamu bagyezimbire.

Basoomozezza abakulembeze baabwe mu lukiiko lw’eggwanga olukulu okuli Cissy Namujju ,Hajji Muyanja Mbabaali ,Abdu Kitatta ne Joseph Muyomba Kasozi okubasuulirira ne batateeka Gavumenti ku nninga ku by’okufa kwa Kaweesi era wano webasinzidde ne bawa Gavumenti nsaleesale wa mwezi gumu okubawa alipoota ekwata ku kufa kwa Kaweesi singa kino Gavumenti eneeremwa okukikola bajja kukolawo akatiisa.

Basabye omukulembeze w'eggwanga okuvaayo ayingire mu nsonga zino ssaako okweyambisa abakugu mu kunoonyereza naddala abakugu okuva mu ggwanga lw'America kubanga ne Uganda etera nnyo okuyamba amawanga ago nga gali mu buzibu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Diego Maradona

Diego Maradona eyaliko kafu...

Ensi yonna eri mu kukungubaga lw'okufa kw'eyaliko kafulu mu kucanga akapiira mu nsi yonna Diego Maradona afudde....

Akakiiko k'eddembe ly'obunt...

AKAKIIKO k’eddembe ly’obuntu kavumiridde ebikolwa by’okutyoboola eddembe ly’obuntu ebyetobese mu kwegugunga okwabaddewo...

Abamu ku bazannyi ba komedi.

Kapere bamugobye mu kibiina...

TAATA Sam yeegasse ku Ssenga Ssebanga ne bagoba Kapere nga bamulanga kwagala kutabula kibiina kyabwe. Mu kaweefube...

Abaserikale nga bakwata Bobi Wine lwe yeewandiisa okuvuganya ku bwapulezidenti.

Poliisi eremesezza Bobi Win...

POLIISI e Kibaale eremesezza Bobi Wine okukuba olukung'aana mu kifo kye yategese ne bamutegeeza nti takkirizibwa...

Sheikh Muzaata ali mu ddwaaliro.

Mutabani wa Muzaata atabuki...

MUTABANI wa Sheikh Nuhu Muzaata Batte avuddeyo ku bulwadde obuluma kitaawe. Atabukidde abasaasaanya amawulire ag'obulimba...