TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abavubuka munaana bakwatiddwa ku bubbi e Kawanda

Abavubuka munaana bakwatiddwa ku bubbi e Kawanda

Added 18th May 2017

POLIISI y'e Kawanda ekutte abantu mwenda abagambibwa okutigomya ab'e Kawanda.

 Abamu ku baakwatiddwa nga bali ku poliisi y'e Kawanda.

Abamu ku baakwatiddwa nga bali ku poliisi y'e Kawanda.

Bya WASSWA B. SSENTONGO
 
POLIISI y'e Kawanda ekutte abantu mwenda abagambibwa okutigomya ab'e Kawanda.
 
Abantu bano ebayooledde mu kikwekweto ky'ekoze mu bitundu okuli Kivvulu, Kaayi ne Kirinnyabigo ng'abantu bano baasangiddwa mu bifo ebyekusifu nga kigambibwa nti be batigomya abatuuze mu kitundu kino.
 
Ku baakwatiddwa kubaddeko n’omuwala ayitibwa Kaitesi Nakalema nga kigambibwa nti babadde bamukozesa okunyaga abatuuze naddala abasajja.
 
Babadde bamutega abasajja n'amanya ekiri mu nsawo yaabwe n'oluvannyuma n'abawendulira ne bamubba.
 
Abakwatiddwa kigambibwa nti baliko kye bamanyi ku bulumbaganyi obwakoleddwa e Kawanda Kirinnyabigo ababbi abeebijambiya bwe baazinze abatuuze ne babatemaatema n'okubabba.
 
Ssentebe w'e Kawanda, James Kigoonya yagambye nti, obubbi bweyongedde era poliisi erina okukola ebikwekweto ebyamaanyi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.