TOP

Mzee Byanyima abadde tampa kalulu- Besigye

Added 18th May 2017

EYAVUGANYAAKO ku bukulembeze bw’egwanga emirundi ena mu kibiina kya FDC, Dr. Kizza Besigye awuniikirizza abakungubazi bw’akyasanguzza nti omugenzi Boniface Byanyima wadde abadde yamuwa muwala we, Winnie Byanyima, era nga bombi mu byobufuzi balwanyisa Gavumenti ya NRM, abadde yagaana okumuwa akalulu ke.

 Besigye mu kampeyini gye buvuddeko

Besigye mu kampeyini gye buvuddeko

Bya ASHRAF KASIRYE

EYAVUGANYAAKO ku bukulembeze bw’egwanga emirundi ena mu kibiina kya FDC, Dr. Kizza Besigye awuniikirizza abakungubazi bw’akyasanguzza nti omugenzi Boniface Byanyima wadde abadde yamuwa muwala we, Winnie Byanyima, era nga bombi mu byobufuzi balwanyisa Gavumenti ya NRM, abadde yagaana okumuwa akalulu ke.

Bino Besigye yabyogeredde mu lumbe olwakumiddwa mu maka g’omu ku batabani b’omugenzi agasangibwa e Muyenga ayitibwa Anthony Byanyima, abantu abenjawulo gye baasuze nga bakubagiza abaana n’eηηanda z’omugenzi.

Anthony Byanyima (asooka ku ddyo) Robert Kabushenga nabakungubazi abalala mu Lumbe lwa Byanyima

 

Byanyima, 96 yafi iridde mu ddwaaliro lya Nakasero ku Lwokubiri lwa wiiki eno, gye yabadde addusiddwa oluvannyuma lw’okusannyalala mu kiro ekyakeesezza Olwokubiri, era ettuntu ly’Olwokubiri teyalisusse n’assa ogw’enkomerero.

E Muyenga, abantu abenjawulo baayogedde eri abakungubazi, era ne Besigye (omu ku bako abakulu mu maka) olwatuuse ne bamuwa omuzindaalo abeeko ky’ayogera.

Yasoose n’atenda omugenzi olw’okuyimirira ku nsonga gy’akkiririzaamu, era nga tewali kibadde kisobola kumuggya ku mulamwa.

Yawadde ekyokulabirako nti olw’okuba omugenzi abadde akkiririza nnyo mu bukulembeze bwa DP, era ng’alina essuubi nti ejja kuddamu okufuga ku ggwanga lino, yagaana okuwa Besigye owa FDC akalulu ke nga DP weeri.

Nasasira ng'akubagiza muwala w'omugenzi Olivia

 

“Buli kimu okuva ku magezi n’obuyambi obwa buli kika, abadde abumpa era ng’alaga nti ayagala nnyo ntuuke ku buwanguzi, naye ng’aηηamba nti tasobola kulya mu kibiina kye Lukwe,” Besigye bwe yagambye.

Yategeeezezza nti mukoddomi we amuyigirizza nnyo okulemera ku nsonga gy’alowooza nti y’entuufu, era y’omu ku baamusomesa obubi obuli mu kutunda ky’okkiririzaamu olw’ebintu ebitonotono ng’ensimbi.

Mu ngeri y’emu, Besigye yakiikidde ensingo abantu abaagezaako okuliraanya amaka ga taata wa mukyala we n’obusosoze mu mawanga n’agamba nti kye bakola kikyamu nnyo kubanga omugenzi Byanyima mu bimu ku bintu by’abadde asinga okulwanirira, ye Uganda eyaawamu etaliimu busosoze na kuboola muntu yenna.

Yagambye nti omugenzi abadde atoola akatono k’alinawo, n’akagabira abantu abatali ba ggwanga lye, gamba nga mu bukiikakkono bwa Uganda, mu buvanjuba ne mu massekkati, era nga mu bitundu ebyo byonna alinayo emikwano gye yafuula eηηanda.

Yayongeddeko nti Byanyima abadde atuuka ne ku ssa ly’okubi-ssaamu engatto, n’akyala mu bitundu ebyewala ng’agamba nti agenze kukyalira baganda be era baganda b’abaana be, so nga yabakolako bukozi mikwano.

“Noolwekyo bwe nnawulira gye buvuddeko mu misango egyagwawo nga ba Kanyamunyu bavunaanibwa, abantu abamu ne babiyingizaamu enjawukana ezeesigamiziddwa ku mawanga, nnanyolwa nnyo, era ne muzeeyi tekyamusanyusa wadde nga yabasonyiwa,” Besigye bwe yagambye.

Okukungubaga kuno kwetabiddwaako abantu abenjawulo okwabadde ababaka ba palamenti nga Roland Kaginda owa Rukungiri n’abalala, Omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule y’ebyensimbi, Keith Muhakanizi, akulira kkampuni ya Vision Group Robert Kabushenga, eyali minisita w’ebyempuliziganya ne tekinologiya John Nasasira n’abalala bangi era abasinga baayogedde ebirungi ebitenkanika ku mugenzi Byanyima.

Omugenzi Byanyima

 

Nasasira mu kwogera kwe, yatenderezza omugenzi olw’okwagala ennono ye, n’anyumya engeri gy’abadde abakumaakumamu, okusigala nga bajjukira era bayimirizeewo ebyobuwangwa byabwe ng’abava mu Ankole.

Yayongeddeko okumusiima okukuza abaana n’abasomesa ng’abaluηηamya okubeera aboomugaso eri eggwanga lyabwe, era tebamuswazizza, n’agamba nti baweerezza eggwanga lyabwe n’okusukka ensalo.

Abaana b’omugenzi Anthony ne Olivia Byanyima baagambye nti kitaabwe bagenda kumujjukirako bingi nnyo naye ekisinga obukulu ky’abadde assaako essira, kwe kubakubiriza okweyisa obulungi, okwewa ekitiibwa n’okwagala abantu bonna.

Enteekateeka z’okuziika omugenzi, we bwakeeredde Olwokusatu nga tezinnaba kufulumizibwa kubanga abaana be abasinga baabadde bakyali bweru wa ggwanga, ate nga baabadde balina okubalindako babeewo mu kusalawo ku nsonga ezimu ezikwata ku kuziika.

Omugenzi alese abaana mukaaga; Edith Byanyima, Winnie Byanyima, Anthony Byanyima, Martha Byanyima, Abraham Byanyima, n’omuto Olivia Kombozi Byanyima era nga nnyaabwe Gertrude Byanyima ye yamusooka okuva mu bulamu bw’ensi eno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Diego Maradona

Diego Maradona eyaliko kafu...

Ensi yonna eri mu kukungubaga lw'okufa kw'eyaliko kafulu mu kucanga akapiira mu nsi yonna Diego Maradona afudde....

Akakiiko k'eddembe ly'obunt...

AKAKIIKO k’eddembe ly’obuntu kavumiridde ebikolwa by’okutyoboola eddembe ly’obuntu ebyetobese mu kwegugunga okwabaddewo...

Abamu ku bazannyi ba komedi.

Kapere bamugobye mu kibiina...

TAATA Sam yeegasse ku Ssenga Ssebanga ne bagoba Kapere nga bamulanga kwagala kutabula kibiina kyabwe. Mu kaweefube...

Abaserikale nga bakwata Bobi Wine lwe yeewandiisa okuvuganya ku bwapulezidenti.

Poliisi eremesezza Bobi Win...

POLIISI e Kibaale eremesezza Bobi Wine okukuba olukung'aana mu kifo kye yategese ne bamutegeeza nti takkirizibwa...

Sheikh Muzaata ali mu ddwaaliro.

Mutabani wa Muzaata atabuki...

MUTABANI wa Sheikh Nuhu Muzaata Batte avuddeyo ku bulwadde obuluma kitaawe. Atabukidde abasaasaanya amawulire ag'obulimba...