TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gwebakwatidde mu bubbi asimattuse okuttibwa abatuuze

Gwebakwatidde mu bubbi asimattuse okuttibwa abatuuze

Added 21st May 2017

Gwebakwatidde mu bubbi asimattuse okuttibwa abatuuze

 Poliise ng'egezaako okutaasa agambibwa okubeera omubbi

Poliise ng'egezaako okutaasa agambibwa okubeera omubbi

OMUSIRIKALE okuva ku poliisi y’e Mukono alwanaganye n’abatuuze ababadde bagudde ekiyiifuyiifu ku muvubuka Joshua Kasirye ow’e Nassuuti nga bamukuba baagala kumutta.

Kasirye kigambibwa nti baamukwatidde mu nnyumba y’omutuuze mu kikomera ekimu ku kyalo Upper Nabuti ng’amaze okusala kkufulu ayingidde atandise okupakula ebintu by’abadde agenze okubba.

 

Ono bamuguddeko ne batandika okumukuba okutuusa owa poliisi omu abadde atambula amakuboge bw’atuuse wano n’abagaana okukutta omuvubuka ono.

Afande alaajanye ku ssimu ng’ayita abapoliisi banne okuva ku poliisi e Mukono kyokka bano kibatwalidde eddakiika nga 40 okutuuka ne bamutikka ku kabangali ya poliisi ne bamutwala. Bino byabaddewo ssaawa nga ez’okumakya.

 

Ono babadde bamaze okumusiba akandooya n’okumwambula engoye ng’owapoliisi y’abalagidde ne bamwambazaako waakiri empale.

 

Bano balangidde poliisi okukolagana n’ababbi nga bbo bwe bakwata ababbi ate nga poliisi ebata. Francis Bagambe omutuuze w’e Nabuti agambye nti obubbi ennaku zino bweyongedde mu kitundu nga naye buli mubbi gwe bakwata ne bamukwasa poliisi emuta n’alya butaala nga tavunaaniddwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nambooze ng'ayogera eri abavubuka ba People Power e Mukono ku NUP.

Nambooze yeekokkodde abamwe...

Nambooze yeegobyeko abamwekukuutirizaako mu kalulu olumala ne bajeema.

Engeri gy'ofuna mu nkoko z'...

ENKOKO z’amagi zirimu ssente mu kiseera kino, naddala ng’ozirabiridde obulungi ne zitandikira mu budde obutuufu...

Hajji Musa ng'annyonnyola

Enkoko z'ennyama 100, zikuk...

NGA buli omu asala entotto ku ngeri gy'asobola okuyingiza akasente mu nsawo okuyita mu mbeera y'ekirwadde kya Corona,...

Akulira  Tourism board Lilly Ajarova ng'ayogera ku by'obulimi

Akulira Uganda Tourism boar...

Akulira ekitongole kye byobulambuzi mu gwanga ekya Uganda tourism board Lilly Ajarova akubirizza abalimi mu gwanga...

Omubuulizi Moses Tumwebaze okuva ku St.Stephen’s ng’akwasibwa ebbaluwa.

Bannaddiini balaze engeri g...

BANNADDIINI basanyukidde ekya Pulezidenti Museveni okuggulawo amasinzizo ne balaga engeri gye bagenda okuluhhamyamu...