TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bebaamenyera amayumba gaabwe e Nakawa bagenze mu kkooti

Bebaamenyera amayumba gaabwe e Nakawa bagenze mu kkooti

Added 22nd May 2017

Bebaamenyera amayumba gaabwe e Nakawa bagenze mu kkooti

Abamu ku baamenyebwa amayumba gaabwe nga bali ku kkooti ya Twe Tours

Abamu ku baamenyebwa amayumba gaabwe nga bali ku kkooti ya Twe Tours

ABATUUZE b'e Nakawa abasoba mu 800 abaamenyerwa amayumba gaabwe n'okwonoonerwa ebintu, ekitongole kya KCCA bwe kyali kimenya abeesenza mu kibangirizi ky'eggaali y'omukka mu 2014, baakedde kweyiwa ku kkooti ya Civil Division Land matters ku Twed Towers mu Kampala leero okuteekayo okusaba okubaliyirira bye bafiirwa.

Batuukidde wa muwandiisi w'emisango gya kkooti eno gwe bawadde embalirira ya buwumbi 38 zebagamba nti bye bintu ebyayonoonebwa.

Bano baludde nga beemulugunya okuviira ddala mu 2014 nga bagamba nti baali bataddeyo okujulira kwabwe mu kkooti y'eby'ettaka baleme kumenya, kyokka KCCA n'egenda mu maaso ne bamenya mu kiro ekyakeesa olwa 28 july 2014 ebintu byabwe byonna omwali amayumba neby'omunnyumba nebyonoonebwa.

 
Amayumba g'abatuuze agasukka mu 800 n'ebyabwe byonna byayonoonebwa mu kumenya kuno.

 

Bagamba baludde nga bali mu kkooti y'ebyettaka ku musango gwabwe, naye nga tebafuna bwenkanya kwe kusalawo bakole embalirira y'ebintu byabwe ebyayonoonebwa basasulwe.

 

Battottodde obuzibu bwebayitamu omuli; okudda mu byalo, abamu basuzibwa busuzibwa abaalina amaka gaabwe, abasinga bali mu mizigo, ebintu byabwe bingi byabula,  kale baagala baliyirirwe.  Era okusaba kwabwe kukkiriziddwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...