TOP

Taata wa Ivan ayogera bikankana ku Zari

OMUGENZI Ivan Ssemwanga bamukumidde ennyimbe nnya okumukungubagira mu bifo eby’enjawulo.

Omugenzi Ssemwanga ne Zari baali kabaani ku ndongo okutuusa Omutanzania lwe yamupasula.

Omugenzi Ssemwanga ne Zari baali kabaani ku ndongo okutuusa Omutanzania lwe yamupasula.

 Bya Martin Ndijjo, JOSEPHAT SSEGUYA, MOSES NSUBUGA  NE JOSEPH MAKUMBI

OMUGENZI Ivan Ssemwanga bamukumidde ennyimbe nnya okumukungubagira mu bifo eby’enjawulo.

Olumbe olukulu lwakumiddwa mu maka g’omugenzi e Muyenga abooluganda ab’omu Kampala gye baakungaanidde, olumbe olulala lwakumiddwa mu maka g’omugenzi mu kibuga Pretoria, South Afrika, nga luno lwetabiddwaako okusinga ab’emikwano gy’omugenzi b'abadde abeera nabo.

Abantu ku kyoto mu lumbe olwakumiddwa ewa maama wa Zari e Munyonyo.

 

Olumbe olwokusatu lwakumiddwa Kayunga ku biggya Ssemwanga gy'agenda okuziikibwa, ate olumbe olwokuna, lwakumiddwa mu maka ga nnyina wa Zari e Munyonyo oluvannyuma lw'okufuna obutakkaanya wakati wa famire ya Zari n'eya Ssemwanga, ku bikwata ku byobugagga by’omugenzi.

 KITAAWE WA SSEMWANGA ALUMIRIZZA ZARI

Kitaawe wa Ssemwanga omuto, Herbert Luyinda nga y'akulira famire era ng’ayali mu nteekateeka z’okuziika, yasinzidde mu lumbe e Muyenga n’alabula Zari adde ku nneeyisa ye nti bwataakikole tajja kumukkiriza kwogera mu kuziika era tajja kumwanjula mu bantu.

Luyinda eyabadde ayogeza obusungu yagambye nti ebikolwa bya Zari n’ebigambo by'ayogera bityoboola famire yaabwe kyokka nga ewa mutabani waabwe yaddukayo dda.

Abakungubazi abaasuze e Muyenga mu lumbe lwa Ssemwanga.

 

Luyinda yagambye nti ye talina kubuusabuusa kwonna nti embeera Zari gy'azze ayisaamu Ssemwanga ye yamuviiriddeko okufa kubanga okuva lwe yamuddukako obulamu bwa Ssemwanga bwakyuka era buzze bunafuwa.

Bwe yabuuziddwa okwongera okutangaaza ku nsonga eno Luyinda yazzemu nti, “ggwe tomanyi Zari by'azze akola Ssemwanga wakati mu laavu ne ssente z’abadde amuwa, omukazi n’atuuka okuganza abasajja mu maaso ga mutabani wange ng’osuubira ayinza okusigala kye kimu’, Luyinda bwe yategeezezza.

Luyinda yalumirizza Zari okuganza abasajja okuli ayitibwa Lugudde azannya omupiira gw’ensero, Pharouque Sempala, omuyimbi Omutanzania Diamond Platnumz, gwe yakazaalamu n’abaana babiri, n’abalala nti bino byonna bizze bikosa Ssemwanga.

Luyinda agamba nti olw’enkolagana gy’abadde n’omugenzi abadde amubuulira kumpi buli kyama kye era ekimu ku bintu ebibadde bimubonyaabonya n’okumumalako emirembe ye laavu ennyingi gye yalina ewa Zari.

Luyinda (ku kkono) akulira ennyumba ya ba Ssemwanga yatabuse olwa Zari okudduka ku mutabani we.

 

JJAJJA ATANKANYE OBUZAALE BW'ABAANA

Luyinda era yategeezezza nti ng'omukulu wa famire aweerezza ssente e South Afrika okukola ku ntambula y’omuwala abadde muganzi wa Ssemwanga ng’ono gw'agenda okwanjula nga namwandu omutongole.

Yagasseeko nti olw’ebibaddewo wakati wa Zari ne Ssemwanga, yandiwalirizibwa okutwala abaana ba Zari bakeberebwe omusaayi okukakasa oba ddala Ssemwanga ye kitaabwe.

Wabula ebigambo bya muzeeyi Luyinda byanyiizizza abamu ku ba famire abaabadde mu lumbe ne bamukomako nga bagamba nti by'ayogera byongera kuswaza famire ate ng’ebimu tabirinaako bukakafu.  

Luyinda yawagiddwa King Lawrence omu ku booluganda lwa Ssemwanga b'abadde abeera nabo e South Afrika eyagambye nti Zari tebasobola kumwanjula nga namwandu wa Ssemwanga kubanga teri mukazi afumba mu malya abiri.

Maama wa Zari ng'akaabira Ssemwanga taata wa bazzukulu be. Ku ddyo ye bba Hassan. Baabadde Munyonyo

 

OMULAMBO GUTUUKA E NTEBE KU SSANDE

Yamalirizza ng’akunga mikwano gya Ssemwanga bonna okweyiwa mu bungi ku kisaawe e Ntebe Ku Ssande okukima omulambo gwa mukwano gwabwe balage omukwano gwe babadde bamulaga nga mulamu.

King Lawrence yabuuzizza nti, "Zari abadde mufumbo ewa Ssemwanga ate mu kiseera kye kimu nga mufumbo ewa Diamond Platnumz?" nti ye ng’abadde abeera ne Ssemwanga omuwala abadde mu bulamu bwe w'afiiridde ye Ddudu nzaalwa y’e South Afrika   era amuleese n’olubuto.

Agambye nti abo abaagala okumulaba mu kuziika agenda kubeerayo”  

Abakungubazi mu maka ga Ssemwanga nga bafuna emmere

 

MAAMA WA ZARI AYANUKUDDE

Halima Hassan, nnyina wa Zari yategeezezza nti yasazeewo okukuma olumbe mu makaage olw’ebigambo ebingi ebiriwo ng'atya nti bwe bagenda mu famire ya Ssemwanga bayinza n’okutuusibwako obulabe.

Halima Hassan eyasangiddwa mu makaage e Munyonyo mu lumbe, yabadde mu maziga ng’agamba nti wadde muwala we yali yanoba ewa Ssemwanga, naye Ssemwanga tabasuulirirangako era buli lw'abadde ajja mu Uganda ng'agenda awaka n’amufumbira n’ekijjulo nga mutabani we.

Yagambye nti alumwa okuwulira ng’abamu ku ba famire ya Ssemwanga bayita muwala we malaaya ayagala okubba ebintu by’omwana waabwe n’ajjukiza nti buli kya bugagga Ssemwanga ky'alina bakikoze na Zari.

Olumbe luno okusinga lwetabiddwaamu ab’emikwano ku ludda lwa Zari be yacakalanga nabo mu Kampala n'abooluganda lwa Zari nga balindirira enteekateeka y’okuzza omulambo ku Ssande n’okuziika.

Ku lugendo lwa Ssemwanga lw'asembye okujja mu Uganda mu April yagula ebyokulya n'okunywa ne ssente enkalu n'abitwalira abaana abanaku abali mu maka ga Mlisanda e Nsambya. Kino abadde tatera kukikola nga bw'ajja okuwummula azimalira mu bbaala.

 

EKIGENDA MU MAASO E KAYUNGA

Ku biggya e Kayunga, omulimu gw’okubirongoosa gugenda mu maaso era ennyumba y’okukiggya yayooyooteddwa.

EKIRI E SOUTH AFRIKA

Olumbe lwakumiddwa mu maka g’omugenzi, mu kibuga Pretoria era ab’emikwano bangi baasulawo okuva omugenzi lwe yafa.

Waategekeddwaayo n’okusabira omwoyo gw’omugenzi ng’eteekateeka z’okuzza omulambo ku butaka bwe zikolebwako.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...

Paasita Ssennyonga ng'agugumbula Yiga mu lukung'aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku kkansisa ye

Okufa kwa Yiga kusajjudde e...

AKATAMBI Pasita Ssenyonga ke yakutte nga Yiga tannafa kongedde okusiikuula abasumba ne beetemamu ng’abamu boogerera...