
Abalamazi nga batambula okujja e Mugongo
EKIBINJA ky’abalamazi 104 okuva mu Bulabirizi bwa West Ankole nga batambuza ebigere batuuse e Lukaya mu lugendo olunnabatuusa ku kiggwa ky’abajulizi e Nakiyanja Namugongo gye baneetabira mu bikujjuko eby'okukuza olunaku lw'Abajulizi olukuzibwa nga 3 june.
Bano bakulembeddwa abaawule mukaaga okuli Rev.Jackson
Batungirwe,Rev.Betty Atuhire,Rev.Sam Kwataaye,Rev,Benard
Mujuni,Rev.Lauben Arinaitwe ne Rev.Geofrey Kamanyuse.
Ekibinja kino kyegasse ku balamazi 86 abaavudde mu Bulabirizi bwa
Ankole ng’e Lukaya beetabye mu kusaba kw’okubazaamu amaanyi mwe balagidde nti bakyali bamalirivu okutuuka e Namugongo.
Okusaba kukulembeddwa Omusumba w’obusumba buno obwa All Saint Church Lukaya Rev.Enock Musaasizi abasabidde ng’ayambibwako abaawule abalamazi wakati mu kukoloobya ennyimba.
Mu balamazi bano mubaddemu omukadde ow’emyaka 70 Samuel
Bagyendahi n’omuwala ow’emyaka 13 Leah Kyalimpa nga bategeezezza nti bagenda okwanjulira abajulizi ebizibu byabwe babibatuusize ewa Katonda abibakolereko.
Omusumba Musaasizi abaliisizza enjiri n’abagumya obutaterebukanga n’akunga n’Abakristaayo b’omu Masaka nabo okwegatta mu lugendo lw’e Namugongo bongere okulaga okwagala kwabwe eri eddiini yaabwe n’abajulizi.
Olwavudde wano beeyongeddeyo ne basomoka Lwera ng'abakulembedde ye Rev.Bitungirwe agambye nti bonna abaamukwasibwa bakyali balamu wadde
ng'abamu bafunyeemu okukosebwa okutonotono naye tekunnabalemesa.