
Kayiira nga yeekenneenya emmotoka gye yakoze
MOSES KAYIIRA eyakola mmotoka gye yatuuma Uganda 1 eyasanyusa ennyo bannayuganda akoze endala gy'atuumye Uganda 2 ng’eno agenda kugitongozza mu September w’omwaka guno .
Kayiira ye nannyini Galagi ya Bakayiira Diesel Garage ku luguudo lwe Saalama era nga yaddamu ebibuuzo ebikwata ku bidduka mu lupapula lwa Bukedde buli Lwakuna
Yasooka n'akola mmotoka eyasanyula abantu bangi omwali ne Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi, abakungu mu Gavumenti ya wakati , abannaddiini n’abalala .
Kayiira ekirooto kye kyali kyakusisinkana pulezidenti Museveni amulage mmotoka ye UGANDA 1 ekoleddwa munnayuganda kyokka tekyasoboka olw’okubulwa omuntu omutuufu amutusaayo , okutuusa bwe yafuna amagezi amalala agakola mmotoka endala ng’eno yagitandikako ku ntandikwa ya 2016 era ng'eyawukana nnyo n'eyasooka
2008 yasooka kugenda mu tendekero lya Black Burn College mu Bungerezza erisomesa okukola mmotoka ng’eno gye yajja obwongo obukola mmotoka , mu kiseera kino mmotoka UGANDA 2 ebulako ebintu bitono etandike okutambulira ku nguudo za Uganda.
Kayiira agamba nti ategese omukolo gw’okutongoza mmotoka eno mu September nga 30 ku Hotel Africana.
Kayiira yayitiddwa mu lukiiko lwa UNA olugenda okuba mu America nga okuva nga 1-3 nga lugenda kwetabwamu bannayuganda abenjawulo okuva mu nsi ez'enjawulo nga luno kayiira yayitiddwa nga Munnayuganda omuyiiya asobole okubaako byakubaganyako ebiroowozo ebisobola okuzimba Uganda.
Kayiira mu mu kiseera kino anoonya kampuni , ebitongole n’abantu ba Ssekinoomu bamuyambeko okutegeka omukolo gw’okutongoza mmotoka eno , ng’agenda ku sooka kugitongoleza mu UNA alyoke agitongoleze wano .
Mmotoka eno ebigiriko , ya Manual , sipiidi Mita ekoma ku 160 , ekozesa amafuta ga petulooli , ya CC 1.6 , Ttanka yaayo ya liita 65 , ekozesa amasannyalaze ga Volts 12 ,
Buli kiromita 20 enywa liita y’amafuta ng’okuva e Kampala okutuuka e Ntebe enywa liita biri , eyambala emipiira size 16, mu maaso watulaayo abantu babiri , emabega waayo , erina GPS kwosobola okukozesa nga bagibbye.
Erina Radio, Ac , ebweba erina kye fudde nga kyamasanyalaze okusobola okukozesa Kompyuta okuzuula ekirwadde , etulako battery ya N50 , Esikira mu maaso ekigiyamba okutambulira ku nguudo z’a Uganda ezijjudde ebinnya n’obuserezi ,
Kayiira agamba nti singa afuna okukwatibwako okuva mu Gavumenti alina obusobozi obutendeka abavubuka okuyiga okukanika n’okukola mmotoka naye ekizibu talina ssente nga n’abavubuka batendeka talina bikozesebwa bya mutindo .