TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Baabano bamuzibe abamaze emyaka 52 mu bufumbo. Emboozi yaabwe yeewuunyisa!

Baabano bamuzibe abamaze emyaka 52 mu bufumbo. Emboozi yaabwe yeewuunyisa!

Added 4th June 2017

Baabano bamuzibe abamaze emyaka 52 mu bufumbo. Emboozi yaabwe yeewuunyisa!

 Wamalwa ng’afumba emmere ne mukyala we Esther.

Wamalwa ng’afumba emmere ne mukyala we Esther.

BAABANO abaagalana abamaze emyaka 52 mu bufumbo bwa bamuzibe naye buli olukya baba ng’abaakalabagana.

John ne Esther Wamalwa nga batuuze b’e Luzinga-Kijogwa mu ggombolola y’e Wankole mu disitulikiti y’e Kamuli engeri gye batambuzaamu obufumbo buno baginyumya bati: “ Nasisinkana Esther Chuma, enzaalwa y’e Namulungu mu Kenya 1965 nga namusiimira ku ddoboozi lye kuba naziba amaaso mu 1959 bwe gaalwala.

Ekuba omunaku tekya, musajjawattu eyali amanyi nti ke nafuna Esther alaba kiwedde, kati nze nkuluusana n’emirimu omuli okukima amazzi ku nayikondo, okufumba, okutyaba enku. Obulwadde obwanziba amaaso bwakwata ne kabiite wange mu 2012 naye ne bumuziba amaaso ate asanga obuzibu kuba ne bwe kuba kutambula nga simukutteeko atomera ebisenge.

Amaaso ga Esther gaatandiikiriza n’okusiiwa, okuluma n’okisikula, lumu aba agenda ku Kkanisa okusaba ekintu ne kijja ng’ekifaananyi ky’omuntu ekitwakaavu ekyaziba abaaso be “bbbu”, era eka baamukomyawo bamukutte ku mukono, era okuva kw’olwo gaaziba.

Ndi mutabani w’abagenzi Paul Were Singa ne Anasitanziya Nahuuba, abaali abatuuze b’e Budumba mu disitulikiti y’e Butaleja, nga nazaalibwa mu 1946 ng’amaaso galaba bulungi. Okubeera nga siraba tekyannemesa kuyiiyiza famire yange. Natandikira ku kulunda nkoko, embuzi n’ente nga bino bye natoolako okuwasa kabiite wange Esther mu 1965.

Nakolako ogw’obusuubuzi nga ntunda dduuka mu kabuga k’e Luzinga nga nze mbyekwatiramu era nga toyinza kumpa kicupuli ne sikwata kuba ssente nali nzimanyi. Mukama mu bufumbo bwaffe yatuwa abaana mwenda, abataano baafa kati waliwo Margaret Nasenya, James Wateeta, Were Songa Wangoli ne Jackson Wamalwa.

WAMALWA ANYUMYA Obufumbo bwaffe tubutambuliza ku mpagi okuli okwagalana obwesigwa n’okugumira ebizibu. Omukwano gwaffe buli olukya gudda buto kuba mukyala wange, namufuna nga kirabo.

Embooko y’omuwala okufumbirwa muzibe kye nava mmutuuma omuzira wange.” Emyaka gye mmaze naye, tannennyinyala, tawuliriza ηηambo, ampa ekitiibwa era ampita mwami ne nzimba nga ndaba nzijudde.

Amaaso ge bwe gaaziba, nnabakana n’okukola emirimu gye yali akola, nga kati ndi mu kumutendeka ayige engeri abazibe gye bakolamu emirimu naye engeri gye yagaaziba nga mukulu, obukodyo bungi bw’atannayiga. ‘

BAZE TALINA MULIMU GW’ATAKOLA YADDE MUZIBE’

Nneewuunya omuntu atalaba okuη− ηamba nti anjagala saawalira, kuba naguyita mukisa. Era ewa kitange yawaayo ente ttaano. Wamalwa ye musajja gw’otenkanya ku balala, kuba afaayo ku bantu bange, era taata bwe yalwala, ye yasasula ssente z’eddwaaliro. Omwami yali mukozi era omugagga, kuba twalina n’edduuka eddene ly’otoyisaamu maaso.

Okuziba amaaso kyankuba wala, era nsinga kweraliikirira baze olw’emirimu egyamwetuumako kuba nze sinnamanyiira mbeera ya buzibe, ntambula ntomera ebintu. Baze mu buzibe bwe, tulina ennimiro eya kasooli, lumonde, muwogo n’endaggu era mu makungula bye tutunda okufuna ssabuuni, amafuta g’ettaala, omunnyo, ssukaaln’ammanda ga leediyo okuwuliriza ebifa mu nsi. Ekisinga okuηηumya ye laavu gy’andaga kuba wadde tukulanye, ampita sswiiti kammonde!”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dokita ng'agema omwana polio.

Polio taggwangayo - Dokita

GAVUMENTI erabudde Bannayuganda ku bulwadde bwa polio ne balagirwa obutabugayaalirira bayongere okutwala abaana...

Ababbi kkamera be yakutte nga banyaga edduuka e Bunnamwaya.

Kkamera zikutte ababbi nga ...

ABABBI balumbye edduuka ly’ebizimbisibwa e Bunnamwaya ne banyaga ebintu nga tebamanyi nti kkamera ezaabadde munda...

Abatuuze nga bali mu lukiiko.

Batabukidde omusamize mu lu...

ABATUUZE b’e Jjokolera mu ggombolola y’e Nangabo mu disitulikiti y’e Wakiso balumirizza omusamize okubateega n’abawamba...

Ssaabasumba Lwanga n'omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Ssekandi.

Abaserikale musse ekitiibwa...

SSAABASUMBA w’Essaza Ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye abakuumaddembe okuyisa obulungi Bannayuganda...