TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kkooti ewadde Kabaka ekiragiro ku musango gwa Mabiriizi

Kkooti ewadde Kabaka ekiragiro ku musango gwa Mabiriizi

Added 5th June 2017

Kkooti ewadde Kabaka ekiragiro ku musango gwa Mabiriizi

Male Mabiriizi ng'ali mu kkooti ya Twed Towers

Male Mabiriizi ng'ali mu kkooti ya Twed Towers

KKOOTI ekola ku nsonga z’ettaka mu Kampala ewadde ekiragiro ekisaba Kabaka wa Buganda okuwaayo ebiwandiiko ebikwata ku ttaka eryamuddizibwa Gavumenti eyawakati.

olukalala okuli abantu abaawandiisibwa mu nteekateeka y’ekikungo ku ttaka wamu ne sitatimenti za Bbanka okwasasulwa ensimbi zino eri Male Mabirizi awakanya ekya Kabaka okubeera nti ye nnanyinni ttaka mu Buganda.

Omulamuzi Basaza Wasswa awadde ekiragiro kino  olunaku lawaleero ng’addamu okusaba Mabirizi kweyakola nga January 3,2017 ng’ayagala ebiwandiiko bino bimuweebwe kubanga byamugaso mu musango omukulu gwe yawaaba.

Mu kkooti oludda lwa Kabaka lukiikiriddwa Bannamateeka okubadde Sarah Kisubi ne Cyrus Baguma ate Mabirizi eyeewolereza naye agibaddemu.

Ebintu ebyasabibwa Mabirizi byetengeredde nga tewali kitatagerekeka okuli okumanya ebyapa, akawunti za bbanka, ebiwandiiko byamugaso eri omusango, Nga January 3,2017 Mabiriizi yawa Bannamateeka ba Kabaka ekiwandiiko ekisaba bino kyokka tebakiddamu, Kabaka alina kkopi z’ebyapa ebyamuweebwa.

Ensonga kuliko ekya Buganda Land Board ekolera Kabaka wadde balooya ba Kabaka baali bagamba nti BLB yetengeredde nga kizibu ebiwandiiko ebisabibwa okufunika n’olwekyo empoza eno n'agigoba n’ekirala Kabaka okuyita mu balooya be yakkiriza nti abantu bawandiisibwa era n’ensimbi ezikola kino ne zibaggyibwako.

Okuwaayo ebiwandiiko bino, Basaza agambye tekulina kusukka lwa June 30,2017 okusobozesa omusango okugenda mu maaso kyokka ng’ensimbi zonna ez’okubyokyamu zakusasulwa Mabirizi.

Sitatimenti za bbanka ezeetaagibwa kuliko eya akawunti nnamba 01181350009 eya Bank Of Africa ne 9030005607948 mu STANBIC bbanka ku ttabi lya Forest Mall nga zonna ziri mu mannya ga Buganda Land Board nga Mabirizi ayagala ebizikwatako okuva lwe zaggulwawo.

Mu August 2016, Mabirizi yagenda mu kkooti eno n'ateekayo omusango ng’awakanya eky’okuwandiisa abantu ku ttaka lya Kabaka nga basasuzibwa ensimbi ng’ate ye akimanyi nti ettaka si lya Kabaka wabula lya bantu ba Buganda bonna nga Kabaka yalibakuumira.

Oluvannyuma lwa kkooti, Mabirizi ategeezezza nti kkooti erabye amazima ng’era alindiridde ebiwandiiko bino bimuweebwe, aggyemu byayagala kyokka Bannamateeka b’oludda oluwawaabirwa bwe banagaana okubiwaayo kitegeza nti okusaba kwabwe okw’okujulira kunaabeera kusulibwa ye ng’agenda mu maaso n’omusango gwe (nga guwulirwa nga gwa ludda lumu).

 

Ye Denis Bugaya nga ye Mwogezi wa BLB ategeezezza nti  Mabirizi byasaba by'alujjudde ng’ebyapa ebyo gye biri mu Minisitule y’ebyettaka eya Gavumenti eyawakati, asobola okugenda n'abifuna ate ne akawunti zayogerako, zateekebwa mu lujjudde asobola okumanya bwezitambula.

Bugaya agambye nti “ Tugenda kwetegereza ensala y’omulamuzi eno tulabe kiki ekiddako kyetuyinza okukola ate ekirungi kkooti ekkiriza emirimu gy’ekitongole okugenda mu maaso oluvannyuma lwa Mabiriizi okukkiriza okuggyayo okusaba kw’okuyimiriza enkola ya Kyapa mu Ngalo.” 

Omusango gugenda kuddamu okuwulirwa nga July 6,2017 okulaba oba enjuuyi zombi zituukiriza 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Olukiiko lwa NRM e Bukasa L...

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira...

Aba Takisi mu ppaaka y'oku ...

WABALUSEWO obutakanya mu ba takisi mu  ppaaka y'oku kaleerwe ekiwayi ekimu bwe kirumirizza nanyini ttaka kwe bakolera...

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

Gwe baakwatira mu Curfew ne...

OMUYIMBI  eyakwatibwa olw'okugyemeera ebiragiro bya pulezidenti oluvudde mu kkomera e Kigo nayiiya oluyimba lw'atumye...

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...

 Abdallah Mubiru ng'ayogerako n'abazannyi be

Mubiru atendeka Police FC a...

OMUTENDESI wa Police FC, Abdallah Mubiru, aweze nga sizoni ejja bw’alina okulaba nga ttiimu ye evuganya ku bikopo....