TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Agambibwa okubba embaata yeegaanyi ne yeekwasa obusamize

Agambibwa okubba embaata yeegaanyi ne yeekwasa obusamize

Added 6th June 2017

Agambibwa okubba embaata yeegaanyi ne yeekwasa obusamize

SSEMAKA agambibwa okubba embaata n'agikweka bamukutte ne yeegaana.

Akwatiddwa ye Ismah Katamba myaka 22 omutuuze we Kafumu mu Mpigi town council kigambibwa nti abbye embaata ya muliraanwa we Rajab Kiyimba ne bamukwata ng'agikwese mu nsiko.

Kigambibwa nti embaata eno yagibbye kiro ewa Muliraanwa we Kiyimba kyokka ne bamugoba  n'addukira mu kisiko n'agikweka naye nga bamaze okumwetegereza wabula nabo kye baakoze kwe kugenda ne bamuteega mu makaage era olwatuuse ne bamukwata.

Okusinziira ku nannyini mbaata eno Kiyimba alumiriza Katamba okubba embaata ye era Katamba alabye bimusobedde oluvannyuma lw'okukwatibwa n'abatwala gy'abadde agikwese ne bagiggyayo ne bamutwala okutuuka ewa ssentebe w'ekintundu amanyiddwa nga Mesach Kintu n'amubaggyeeko okumutuusa ku Poliisi ye Mpigi

Katamba olutuusiddwa ku poliisi bino byonna abyegaanyi n'agamba nti bamusanze ava kusamira ekiro ne bamuwaayiriza nti abadde ava kukweka mbaata mu nsiko ate nga yagirabye kyokka nga naye tamanyi gye yavudde.

Akulira poliisi ye Mpigi Ronald Mugarura akakasizza obubbi bwa Katamba era n'amuggulako omusango gw'obubbi ku fayiro nnamba SD;04/06/2017 era

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Joel Kakembo akunz...

Omusumba Joel Kakembo owa Mt. Zion Church Gayaza era akulira Upper Room Pastors Network, akubirizza abasumba okwetaba...

Abatuuze mu lukiiko.

Nnamukadde yeekubidde enduu...

Nnamukadde Teddy Nakirijja 75, nnamwandu w'omugenzi Disan Mukasa yeekubidde enduulu mu ofiisi y'omukulembeze w'eggwanga...

Omubaka Kabanda ng'ayogera eri abaddusi.

'Muwagire nnyo enteekateeka...

OMUBAKA omukyala owa Masaka mu Paalamenti, Mary Babirye Kabanda emisinde gy'amazaalibwa ga Kabaka agisimbudde n'abaddusi...

Amuriat (owookusatu ku ddyo) ne banne nga batudde mu luguudo wakati.

Wano nvaawo na guleeda - Am...

Wabaddewo akanyoolagano wakati w'akwatidde FDC  bendera okuvuganya ku bwapulezidenti, Patrick Oboi Amuriat ne Poliisi....

Ssaabasumba ng'akwasa Omukristu Bayibuli. (Ebif. Ponsiano Nsimbi)

Abavubuka mukomye okukola e...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga alabudde abavubuka  okukomya okukola effujjo....