
ABASUUBUZI b’omu katale ka Balikuddembe batadde emisanvu mu luguudo nga bawakanya ekiwandiiko kya kkooti ekyalagidde okumenya akatale kaabwe .
Ku Lwokubiri ng’obudde bukya ku ssaawa 11 ez’oku makya bakanyama ba kkooti nga bayambibwako poliisi y’oku Kaleerwe baamenye akatale ka Ddembe nga basinziira ku kiwandiiko kya kkooti ekyaweereddwa Nalongo Amina Namwese nnannyini ttaka okuli akatale kano .
Namwese yaddukira mu kkooti n’eyekubira enduulu ng’ayagala
Christopher Ssewalu ave ku ttaka oluvannyuma lw’okulemererwa okusasula ssente z’obupangisa nga kati abadde amubanja obukadde 24 okutuusa lwe yaddukira mu kkooti n’emuwa olukusa okujjawo akatale emidaala n’obuyumba mu katale kano
Kino kyanyizizza abasuubuzi nga bagamba nti bandisoose ku babulira ne basobola okujjamu emaali yabwe okusinga okugibba n’okugyonoona ,okusinzira ku kiwandiiko kya Kkooti Ssewalu yali asasula akakadde kamu buli mwezi ng’akawa Namwasa
Wabula Namwase okutuuka okugenda mu kkooti abadde abanja obukadde 24 okumenya akatale kano kyaviiriddeko abasuubuzi okuteeka emisanvu mu luguudo nga bawakanya poliisi okukuuma abaamenye akatale kaabwe ng’era poliisi yagenze okubagumbulula nga batekateeka kutekeera muliro ebintu ebyasuliddwa mu luguudo, oluvannyuma baazinzeko poliisi y’oku Kaleerwe
nga bagala agikulira abannyonyole ekyamuviriddeko okuyiiwa abasirikale ne bayamba ku bawannyondo .
Fred Kifubangabo omusuubuzi we mboga mu katale kano yategeezezza nti yabadde yakasuubula emboga 500 kyokka yagenze okutuuka ku muddaala wakolera nga waliwo emboga 4 , yagasseko nti bbo ng’abasuubuzi bandisoose ne babalabula ne bajjawo emaali yabwe ,Ettaka lino liiri ku poloti nnamba 507 block