TOP

Abakazi Mukiibi be yazaalamu abaana bakyesomba

Added 7th June 2017

ABAKAZI Polof. Mukiibi b’alese azaddemu abaana bakyesomba era omuwendo gwabwe gukyatankanibwa.

 Dr. Sarah Nkonge (mu gaalubindi) n’abamu ku bamulekwa ba Mukiibi nga beesibye amafuvu. Ate waggulu be bamu ku bannamwandu ba Mukiibi

Dr. Sarah Nkonge (mu gaalubindi) n’abamu ku bamulekwa ba Mukiibi nga beesibye amafuvu. Ate waggulu be bamu ku bannamwandu ba Mukiibi

Amangu ddala ng’okuziika Polof. Lawrence Mukiibi kuwedde, aba famire baayise olukiiko olwatudde e Katende ku lw’e Masaka mu nnyumba ekuuma ekiggya, omugenzi gye yazimba.

Olukiiko lwetabiddwaamu abakazi abaazaalira Mukiibi abaana kw’ossa bamulekwa okwabadde n’abakyayonka era okuteesa kwatandikidde ku ngeri gye banaddukanya emirimu omugenzi gy’abadde akola naddala egy’amasomero ga St. Lawrence omusanvu ge yatandika ne yunivaasite yaakwo.

Oluvannyuma baateesezza ne ku ndabirira y’abaana era ekiteeso ne kijja nti abakyala bonna ab’abaana basigale we babadde babeera wabula enteekateeka ekolwe bunnambiro okubawa obuyambi bwonna bwe beetaaga nga Mukiibi bw’abadde abakolera baleme kujula.

Baasoose kubala abaana 26 wabula ate oluvannyuma ne wavaayo abakyala abalala okwabadde n’omuwala eyabadde yeekubye ‘ttatu’ mu mugongo kw’ossa n’abawala abalala babiri abalongo nga bombi balina abaana ba Mukiibi okukkakkana ng’omuwendo gulinnye ne gusukka mu baana 30.

Nnamwandu Betty Mukiibi (wakati) nga banne bamukwatiridde mu kuziika Polof. Mukiibi.

Mukiibi eyafiiridde ku myaka 69, yali yagattibwa ne Florence Mukiibi enzaalwa y’e Kenya wabula ne bafunamu obutakkaanya ne baawukana.

Abaana abasinga obungi Mukiibi yabazaala amaze kwawukana ne Florence era abali wakati w’emyezi omukaaga n’emyaka 16 basukka mu baana 15.

Abamu ku bakazi be yazaalamu abaana baasomerako mu masomero ge ate abalala baakolerako mu masomero ago ng’abamu basomesa ate abalala babazi ba bitabo; wabula waliwo n’abalala be yafuna mu bifo ebirala gy’abadde atera okuyitira.

Abadde musajja wa kisa era omugabi era kigambibwa nti abakyala bangi baamwekubangako olw’enkola ye ey’okuyamba abali mu bwetaavu.

Abakazi babiri ababadde bamanyiddwa ennyo okuli Betty Nakato ne Dorothy Mukiibi era bano bombi babadde basula mu nnyumba emu e Kitemu - Nsangi, amaka g’omugenzi Mukiibi amatongole. Ennyumba eno ya kalina era buli mukyala yamuwaako oludda olulwe, okwewala akakuubagano.

Abakyala abalala b’alinamu abaana abadde yabazimbira amayumba era nga yabagulira n’emmotoka, kyokka abamu abadde akyabapangisiza we basula.

Mikwano gya Polof. Mukiibi nga bamwogerako. Ku ddyo ye Kasole Bwereere ate owookubiri ku kkono ye Polof. Badru Kateregga.

Diana Nyanzi, abadde omuwandiisi wa Mukiibi ow’ekyama ng’akolera ku ssomero lya Horizon Campus e Nabbingo (nga nalyo lya Mukiibi) y’omu ku balina abaana kw’ossa Ruth ne Sarah abasomesa mu London College.

Sarah yali asomesa ku Lakeside College kyokka bwe yakwatagana ne Mukiibi n’akyusa n’atandika okusomesa ku London College erya Mukiibi era Polofeesa w’afiiridde ng’amuzaalidde abaana basatu.

Omuwendo gw’abakazi Mukiibi b’alinamu abaana tegunnakakasibwa, wabula kigambibwa nti basukka mu 10 kubanga waliwo abamu nga yabazaalamu omwana omu yekka.

Abakungu ab’enjawulo nga bakulembeddwa Kennedy Ssebalu beewaddeyo okuyambako famire okukakasa nti ekirooto kya Mukiibi eky’amasomero ag’omutindo kitwalibwa mu maaso.

Mary Justine Tulina eyayogedde ku lw’abaana yagambye nti kitaabwe abatendese era bakuguse bulungi mu kuddukanya emirimu omugenzi gy’abadde akola nga batambulira ku mutindo gw’alese nga balwana kugusukkulumya era n’asaba abazadde okubaweereza abaana mu masomero ga St. Lawrence gonna.

Nnamungi w’omuntu eyeetabye mu kuziika Mukiibi.

Tulina yagasseeko nti kitaabwe abadde n’abaana bangi okuli b’azaala ne b’atazaalira ddala wabula nga yasalawo okubayamba ng’abaana be ddala era n’asuubiza nti abaana abo okuli be yaggya e Mubende, Masaka n’awalala bagenda kusigala nga babalabirira nga kitaabwe bw’abadde akola.

Mukiibi yaziikiddwa ku Lwokutaano era abakungu ab’enjawulo okwabadde baminisita b’ebyenjigiriza Rosemary Ssenninde ne Dr. J.C Muyingo baamutenderezza nnyo olw’omulimu gw’akoze okutumbula eby’enjigiriza mu ggwanga.

Edward Kasole Bwereere yagambye nti yamatiza Mukiibi okuva e Kenya mu 1989 kyokka bwe yamuwa omulimu gw’obusomesa mu Kampala Parents, yasomesa emyaka etaano gyokka n’alekulira ng’ayagala kutuukiriza kirooto kya kutandika masomero era afudde akituukirizza.

Pulezidenti Museveni yawaddeyo amabugo ga bukadde 30, omumyuka we Edward Ssekandi yawaddeyo obukadde 5, Kasule Lumumba ku lwa NRM naye n’awaayo obukadde 5, Maama Fiina 2,000,000/- n’abalala.

EBIRALA...

Basunsudde abaana ba Polof. Mukiibi 53: Bagobye abakazi abazze n'embuto

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.