TOP

Omugole w'omubuulizi anobedde mu nnaku 2

Added 8th June 2017

Omugole w'omubuulizi anobedde mu nnaku 2

 Omubuulizi Matenga nga yaakamala okugattibwa ne Nabuwembo.

Omubuulizi Matenga nga yaakamala okugattibwa ne Nabuwembo.

OMUBULIZI w’ekkanisa akiguddeko bw’akubye omukazi embaga kyokka omugole n’anoba mu nnaku bbiri zokka ng’amulumiriza nti musezi!

Ronald Matenga Mpaata, mubuulizi mu kkanisa y’e Buwanuka mu Busumba bw’e Gayaza era ebyabaddewo abittottola bwati: “Mu ndiga zange ze nsumba, Katonda mwe yannondera omuwala eyammenya omutima ne nsalawo okumukwana tukole obufumbo. Mwanamuwala ono ye Edith Nabuwembo, era namutuukirira ne mmwanjulira ensonga zange.

Yakkiriza okuteesa kwange era ekiseera bwe kyayitawo n’antegeeza nti yali amaliridde tubeere omwami n’omukyala. Twabeera mu mukwano ogw’ekyama okumala emyezi mukaaga nga buli omu yeetegereza munne.

Mu kiseera kino buli omu yabeera wuwe yekka kyokka nga era nga buli omu yeekuumidde munne tulindiridde olunaku nga tulongoosezza ensonga. Nga tumaze okukakasa nti, Katonda buli omu yamutondera munne, munnange yansaba nkyaleko ewa ssenga e Mubende era ekyo ne nkikola.

Olwakimala, yansaba mu butongole annyanjule mu bakadde be nabo ababeera e Mubende era nakyo ne nzikiriza okukikola. Twateekateeka omukolo era mu ssanyu ne hhenda okunnyanjula nga n’omukolo gwatambula bulungi.

Nayanjulwa mu maka ga taata Godfrey Ssebunnya, ku kyalo Kigalama mu Ggombolola y’e Myanzi mu March wa mwaka guno. Omukolo nga guwedde era ng’abakulu bakakasizza nti, banzadde mu luggya lwabwe, namusaba tukomewo ffenna ewange kubanga wadde twali tetunnaba kutongozebwa mu kkanisa yali afuuse wange.

Munnange ekirowoozo kino yakigaana n’ahhamb nti, bwe nkakasa nti, mmaliridde okubeera naye, mmale kumussaako mpeta ndayire mu kkanisa mu maaso g’abangi nti, ye mukazi wange. Wamma nawulira nga nnina okwongeramu amaanyi nkole munnange ky’asabye.

Natuukirira bannange ne twekolamu omulimu ne tutegeka embaga eyabadde ennyuvu, era omukolo gwatambudde bulungi okutuusa okuggwa.

EBYADDIRIDDE NG’EMBAGA EWEDDE Oluvannyuma lw’omukolo, twagenze okuwummulako mu kisenge. Ekiseera bwe kyatuuse, hoo, bwe namukutteeko n’nsammula eri!

Wabula ekyasoose okunterebula n’okwekengeramu, ye munnange okuyingira obuliri nga takyusizza kiteeteeyi kye yakyusirizzaamu nga tukyali mu kidaala. Wabula mamulemeddeko kubanga ebbanga ery’emyezi omukaaga lye nagumiikiriza n’emyezi emirala gye namala okuva ku lunaku lw’okwanjulwa nga mmwesunga.

Yahhamba nti akooye nnyo k’asooke agalangatanye ku kiwanga. Obudde nga bukya namuzuukusizza ne mmujjukiza kyokka n’ampa ensonga y’emu nti, taliimu ndasi ne mbivaako okutuuka emmabya lwe yasala.

Ensonga gye yampadde teyammatizza, naye ne nninda olunaku oluddako. Ng’okulya kuwedde ne tuyingira mu kisenge kyaffe natandikiddewo okumutunuza mu nsonga enkulu kyokka n’ansaba nneme kupapa, kiyitiridde n’enkya lunaku.

Twebase naye ng’enneeyisa ya munnange gye nabadde ntandise sikyagitegeera. Mu nnaku bbiri ng’ali wange yeeyisa bwatyo, olunaku olwokusatu nakeera kuva waka okugenda mu lukiiko.

Kyambuuseeko okukomawo awaka nga munnange asibye ebibye agenze. Nakubye ku masimu ge gonna nga tegaliiko kwe kukuba ku gamu ku b’ehhandaze okwabadde n’abazadde ne bantegeeza nti baabadde tebannamulabako.

Kino kyampitiriddeko ne hhenderawo ku poliisi okugitegeeza nti, omugole ambuzeeko. Natandise okufuna olugambo ku kyalo nti, Edith aliko be yategeezeza nti ndi musezi!

Wabula mu kwongera okubuuza abantu kwe kukitegeera nti, Edith alina omusajja ayitibwa Tonny ng’abeera Kigoogwa.” NABUWEMBO TUMUFUNYE N’AYOGERA Nabuwembo bwe yatuukiriddwa ku ssimu yagambye nti, ekyamunobezza, yakizudde nti omusajja gwe yafumbiddwa musezi.

Agamba nti kino akikakasiza ku byaliwo mu kiro kye yasooka okusula ne bba. Annyonnyola nti bwe baayingira ekisenge yalaba bba ng’ali bukunya asooba n’aggula oluggi n’afuluma ebweru. ‘Nneefuula eyeebase obutamulabula omuntu oyo musezi era nnali siyinza kubeera naye’, Nabuwembo bwe yeewozezzaako.

Agattako nti nga bba tannaba kufuluma yasoose kumeketa mannyo n’okuvaamu amaloboozi ngabyonna bitiisa kye yavudde adduka. Bwe yabuuziddwa lwaki teyasoose kutwala nsonga zino mu kkanisa gye baagattirwa talina nsonga gye yawadde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fred Bamwine ng’akwasa Ndisaba ekitabo ky’ensonga z'e Mukono.

Ndisaba akwasiddwa ofiisi

Bya JOANITA NAKATTE                                                                                           ...

David Kabanda (ku ddyo) omubaka wa Kasambya, Haji Bashir Ssempa Lubega owa Munisipaali y’e Mubende ne Micheal Muhereza Ntambi, ssentebe wa disitulikiti y’e Mubende nga bawayaamu.

Abaalondeddwa ku bubaka mu ...

ABAAWANGUDDE ebifo by’ababaka ba palamenti ku kaadi ya NRM mu konsitityuwensi ez’enjawulo mu Disitulikiti y’e Mubende...

Matia Lwanga Bwanika owa Wakiso.

Ssentebe afunira mu nsako

Eyali Sipiika wa Jinja munisipaali oluvannyuma eyafuulibwa City, Moses Bizitu yategeezezza nti bassentebe ba disitulikiti...

Bakkansala ba Kampala nga bateesa mu City Hall gye buvuddeko.

Omusaala ogulindiridde aba ...

Bya MARGARET ZALWANGO OKULONDA kwa bassentebe ba Disitulikiti, bammeeya b'ebibuga (cities) ne bakkansala b'oku...

Omulabirizi Luwalira ng'asimba omuti.

Ekkanisa ne bwekwata omulir...

Omulabirizi w'e Namirembe, Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira agumizza Abakristaayo nti wadde sitaani asiikudde...