TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Dokita Diana Atwine asiimye enteekateeka za NRM ez'ebyobulamu ebweru w'eggwanga

Dokita Diana Atwine asiimye enteekateeka za NRM ez'ebyobulamu ebweru w'eggwanga

Added 8th June 2017

Dokita Diana Atwine asiimye enteekateeka za NRM ez'ebyobulamu ebweru w'eggwanga

Moses Mulimira ne n'omuwandiisi ow'enkalakkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dokita Atwine Diana

Moses Mulimira ne n'omuwandiisi ow'enkalakkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dokita Atwine Diana

AKULIRA ekitongole ky'ebyobulamu ekyateekebwawo bannayuganda abali e Bungereza (UK Uganda health alliance)asabye bekikwatako okussa mu nkola ebintu ebyayogerwako mu lukung'aana lw'ebyobulamu olwali e Bungereza olwetabwaamu abantu abasukka 200 nga lwakulemberwaamu Minisita Jane Achenge.

Moses Mulimira akulira ekitongole kino ategeezezza nti omuwendo gw'abaana abafiira mu ssanya gweyongedde nnyo ekireeseewo obweraliikirivu era n'ategeeza nti ensonga eno erina okuba ng'ekolebwako mu bwangu ddala.

Moses agambye nti abazadde abagayaalira abaana baabwe okubwatwala okufuna obujjanjabi ssaako n'abo abalowooleza mu kujjanjabira abaana mu masaba olumu n'ekiviirako n'abaana okufa basaanye bakolebweko ng'amateeka bwegalagira kiyambeko okukendeeza ku muwendo gw'abaana abafiira mu mbeera eno.

Olusiisira lw'ebyobulamu olwetabwaamu ba Doctors ab'enjawulo omwali abamannyo, abaamagumba, abamaaso, baayanirizza Lord Dollar Poppard enzaalwa ya Uganda eyakkirizza okubeera omuyima waabwe.

Ssaabawandiisi wa Minisitule y'ebyobulamu mu Uganda Dokita Dian Atwine eyabadde e Bungereza yasanyukidde nnyo enkola y'ekitongole kino ekikulirwa Moses Mulimira era n'akkiriza okubafunira woofiisi ku kitebe kya minisitule y'ebyobulamu kibayambeko okutambuza obulungi emirimu gyabwe.

Moses ayongeddeko nti ekigendererwa ky'ekitongole kyabwe baagala kuyamba ku Gavumenti okuteerawo abantu omukisa ogw'okutendeka abasawo ku mitendera egy'enjawulo era bannayuganda bangi bagenda kuweebwa omukisa okutandika okugenda e Bungereza  okutendekebwa mu mujjanjabi obwenjawulo.

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...