TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bannayuganda abali ebweru w'eggwanga baakuganyulwa mu nkola ya bonna bagaggawale

Bannayuganda abali ebweru w'eggwanga baakuganyulwa mu nkola ya bonna bagaggawale

Added 8th June 2017

Bannayuganda abali ebweru w'eggwanga baakuganyulwa mu nkola ya bonna bagaggawale

 Kimuli Moses omwogezi w'ekibiina kya NRM ebweru w'eggwanga

Kimuli Moses omwogezi w'ekibiina kya NRM ebweru w'eggwanga

BANNAYUGANDA abali mu mawanga g'ebweru bagenda kuganyulwa nnyo mu nteekateeka ya Gavumenti eya bonna bagaggawale ekulirwa Gen. Salim Saleh.

Ekibinja ky'abantu nga bakulembeddwaamu omwogezi w'enkola ya bonna bagaggawale Maj. James Nkojo bateeseteese okusitula mu sseptembe okugenda e Bungereza okubunyisa enjiri ya bonna bagaggawale emu ku pulojekiti Gavumenti zeyateerawo bannayuganda okubaggya mu bwavu 

Omwogezi wa NRM ow'ekiseera ebweru w'eggwanga Moses Kimuli ategeezezza nti bannayuganda abali ebweru w'eggwanga tebasaanya enkola kugibuusa maaso kubanga yeemu kungeri egenda okubayamba nnyo okwongeza ku nfuna yaabwe n'okulongoosa obulamu bwabwe.

Kimuli yeebazizza nnyo Gen Salim Saleh olwamaanyi gaataddemu mu kulwanyisa obwavu mu bannayuganda ng'ayita mu nteekateeka ya Gavumenti eno era bbo nga bannakibiina kya NRM ebweru w'eggwanga enkola eno bagyenyumirizaamu nnyo era bagirinamu essuubi nti ejja kukyusa obulamu bwa bannayuganda bangi.

Kimuli akubirizza abantu abantu okugenda mumaaso n'okwewandiisa mu kibiina kya NRM nga bwe beetegekera okulonda kino kigenda kubayamba nnyo okwongera okufuna ebintu ebirungi eby'enkulaakulana.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...