TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abakolera ku leerwe mu Ndeeba babawadde nsalessale

Abakolera ku leerwe mu Ndeeba babawadde nsalessale

Added 15th June 2017

ABASUUBUZI abakunukkiriza mu 5,000 abakolera mu katale k’oku luguudo lw’eggaali y’omukka mu Ndeeba, balagiddwa okwewandiisa obutasukka lwaleero (ku Lwokuna) basobole okubateekerateekera obulungi.

 Akatale k'oku Leerwe y'omu Ndeeba

Akatale k'oku Leerwe y'omu Ndeeba

Bya VIVIEN NAKITENDE

ABASUUBUZI abakunukkiriza mu 5,000 abakolera mu katale k’oku luguudo lw’eggaali y’omukka mu Ndeeba, balagiddwa okwewandiisa obutasukka lwaleero (ku Lwokuna) basobole okubateekerateekera obulungi.

Baabadde mu lukiiko olwayitiddwa abakulembeze mu munisipaali y’e Lubaga ku Lwokubiri, n’ekigendererwa ky’okulaba kye babakolera nga tebannasengulwa mu kifo kino. Mu 2014, KCCA lwe yasooka okugoba abasuubuzi bano kyokka omulimu gw’okuzimba oluguudo lw’eggaali bwe gutaatandika, ne baddamu okwesenzaawo.

Asuman Ntale, amyuka Meeya wa Lubaga yategeezezza nti, “mukimanye nti mu kibangirizi ky’oluguudo lw’eggaali y’omukka mukolerawo mu bukyamu.

Essaawa yonna mulina okuvaawo. Kale mulina okwewandiisa obutasukka Lwakuna ng’ataakikole ekinaddirira y’anaamanya!”

Yennyamidde olw’obucaafu obususse mu katale kano, n’emize omuli; okuvuma, okuwemula, obubbi n’obutamiivu n’agamba nti bino byonna biva ku butaba na bukulembeze mu katale.

Yabalabudde ku kutundira ebintu mu luguudo wakati kuba kyabulabe. Kwe kukiggumiza nti ateewandiise, ajja kugobwa era ne bwe banaaba bafunye we bazza akatale, oyo tajja kufunamu kifo.

Buli musuubuzi yalagiddwa okwewandiisa ng’akozesa densite y’eggwanga.

Oluvannyuma lw’okwewandiisa, buli musuubuzi ajja kuweebwa ennamba y’omudaala gwe emukakasa nti wa mu katale ako. Ekinaddirira kwe kugenda mu palamenti basabe okubazimbira akatale mu kifo ekiteeketeeke.

ABASUUBUZI SI BAMATIVU

Abakolera mu kifo kino balaze obutali bumativu ku mbeera mwe bakolera omuli obukuumi obutamatiza kuba ebintu byabwe bibbibwa buli lunaku, okugobaganyizibwa nga tebalina we babategekedde kudda, obutaba na mateeka gafuga katale nga buli omu akola ky’ayagala.

Omubaka Kato Lubwama owa Lubaga South yagumizza abasuubuzi nti banoonye ettaka lya yiika ssatu okumpi n’ekibuga kuba yamaze dda okwogera ne Jennifer Musisi n’asuubiza nti KCCA egenda kukisasula.

Ismail Ddamba Kisuze, kansala wa Lubaga III ku KCCA naye eyeetabye mu lukiiko luno yakubirizza abasuubuzi okubeera obumu basabe gavumenti okubazimbira akatale, kubanga essaawa yonna oluguudo lw’eggaali y’omukka lugenda kuzimbibwa, ate tewali musuubuzi yenna ajja kukkirizibwa kukolerawo.

Ddamba yagambye nti oluguudo lw’eggaali lusuubirwa okutandika okukolebwa mu bbanga lya myezi ebiri okuva kati. Yabawadde amagezi okukwatagana n’abakulembeze okufuna ekifo ekituufu we bateeka akatale kaabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamu ku Badiventi nga balaga ekkanisa yaabwe eyamenyeddwa.

Bamenye ekkanisa y'Abadiventi

ABAADIVENTI balaajanidde gavumenti n'ekitongole ky'ebyokwerinda kinoonyereze ku baamenye ekkanisa yaabwe. Ekkanisa...

Omubaka Ssebunya (akutte akazindaalo). M katono ye Nanteza

Nnamwandu wa Kibirige Ssebu...

OMUBAKA Kasule Sebunya owa Munisipaali ya Nansana agumizza Abalokole muka kitaawe be yagabira ettaka ng'akyali...

Omubaka Zziwa (ku kkono) ng’ayogera eri abakungubazi mu kusabira omwoyo gwa nnyina mu katono.

Batenderezza maama wa Marga...

BANNADDIINI batenderezza omukwano Josephine Mugerwa 76, Maama wa Margaret Zziwa Babu gw'abadde nagwo ne basaba...

Katende

Eyakubiddwa akakebe ka ttiy...

ABOOLUGANDA lw'omusuubuzi mu katale ka St. Balikuddembe eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu Kampala mu kwekalakaasa...

Ssegirinya atenda Nalufeenya

Ssegirinya yandyesonyiwa ''Struggle'' ! sikuntenda gyatendamu Nalufeenya.