TOP

Abaazirwanako e Kayunga bayiisemu obukadde 140

Added 15th June 2017

ABAAZIRWANAKO mu lutalo olwaleeta NRM mu buyinza abasobye mu 80 bafunye akaseko gavumenti bw'ebawadde obukadde 140 ez'a kasiimo.

 Ssentebe w'abaazirwanako Ziadi Kirwana ng'aliko bye yeebuuza ku baazirwanako. ekif: SAUL WOKULIRA

Ssentebe w'abaazirwanako Ziadi Kirwana ng'aliko bye yeebuuza ku baazirwanako. ekif: SAUL WOKULIRA

ABAAZIRWANAKO mu lutalo olwaleeta NRM mu buyinza abasobye mu 80 bafunye akaseko gavumenti bw'ebawadde obukadde 140 ez'a kasiimo.

Abaafunye ssente bava mu disitulikiti ey'e Kayunga ne Buyende.

Bano be baayambako mu ngeri ez’enjawulo mu lutalo olwaleeta Pulezidenti Museveni mu buyinza.

Baakung'anidde ku Kayunga community centre okuwaayo akawunti za bbanka ssente ezo kwe banaazifunira era n'ababadde batalina akawunti baazigguddewo.

Baasiimye Pulezidenti Museveni olw'okukuza Jacob Asiimwe n'amwongera ennyota era ne Col. Asiimwe ne bamusiima olw'okukumaakuma abaazirwanako nga bangi bafunye akasiimo.

Ssentebe wa ba “civilian veterans” Zaidi Mulwana yagambye nti abaafunye akasiimo bavudde mu bitundu eby'enjawulo era n'asaba gavumenti ebongere kubanga waliwo abakyaffikkidde.

Kirwana yasabye Pulezidenti Museveni ayongere amaanyi mu kaweefube okwetuukira mu byalo ng'alondoola ebintu ebizze bigabwa kubanga abakulu ku disitulikiti bamwanjulira mpewo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...