TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Badduukiridde ab'e Kabong ku lunaku lw'omwana wa Africa

Badduukiridde ab'e Kabong ku lunaku lw'omwana wa Africa

Added 17th June 2017

Badduukiridde ab'e Kabong ku lunaku lw'omwana wa Africa

 Ebimu ku bintu ebiweereddwa abaana b'e Kabong

Ebimu ku bintu ebiweereddwa abaana b'e Kabong

Bya Faith Nakanwagi

AB'EKIBIINA  kya Child Rights Platform Uganda nga bali wamu n'ekitongole kya ADRA Uganda batonedde abaana b'e Kabong mu Karamoja ebintu ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo nga bajjukira olunaku lw'omwana wa Africa olukuzibwa buli mwaka nga  16/06.

Mu bintu ebitoneddwa kubaddeko ebitabo , pads , sabbuuni sukaali Obuwunga n,ebirala nga bino babibakwasirizza Ku ssomero lya Kabong Secondary School .

Akulira ekibiina kya Child Rights platform Uganda Godfrey Ddumba ategeezezza nti bo ng'ekibiina baakugenda mumaaso n'okudduukirira abaana abataliikko mwasirizi okulaba nga nabo beyagalira mu ggwanga lyabwe ng'abaana abalala bonna.

Ye Akulira ekibiina kya ADRA Uganda e Kabong Lamech Lule ategeezezza nga bwe bakyalina ekizibu eri abazadde be Kabong olw'ensonga nti bangi kubo tebaagalira ddala kutwala baana kumasomero naddala abawala nga kino kiviirako bangi kubo okufumbirwa nga tebanneetuuka.

Kumukolo gwe gumu ,kwetabiddwaako Ssentebe wa District eyakiikiriddwa omumyuka we Regina Imuladi ng'ono asabye abazadde okukomya okufumbiza abaana abatanneetuuka awamu n'okukomya okulindanga Gavumenti ne bitongole ebyenjawulo okusookanga okuvaayo okubawa obuyambi wabula batandike okwekolerera kibasobozese okukweyimirizaawo n'okulabirira abaana baabwe.

Bo abaana obwedda obubaka bwabwe babuyisa munyimba n'ebikwate obwabadde  nga bagezaako okulaga embeera gye bayitamu omuli okutulugunyizibwa , obutaba nabikozesebwa awamu n'obutaba naddembe lyabwe ng'abaana.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...