TOP

Taata w'abaana ba Angella Kalule awunze!

Added 18th June 2017

Taata w'abaana ba Angella Kalule awunze!

 Isaac Zimbe kitaawe w'abaana ba Angella Kalule akatambi kaamutiisizza.

Isaac Zimbe kitaawe w'abaana ba Angella Kalule akatambi kaamutiisizza.

TAATA w’abaana b’omuyimbi Angella Kalule aguddewo ekigwo bw’alabye akatambi k’eyali mukazi we akasaasaana ku mikutu gya yintaneti egy’enjawulo.
 
Isaac Zimbe taata w’abaana ababiri Angella b’alina, yasoose kugamba nti: Bino binsusseeko sikyabitegeera!
 
Oluvannyuma lw’akaseera ng’awunze, yeekung’aanyizza n’agamba nti: Angella mussaamu ekitiibwa nga maama w’abaana era nsaba buli ky’akola alowooze nnyo ku baana baffe kubanga kati bakulu era ebintu eby’ekika kino bibakosa nnyo.
 
Abaana ababiri Felix Zimbe 16, ne Nelvin Zimbe 12, omu ali mu S.4 ate omulala ali mu P.7 era omwaka guno bombi beetegekera bibuuzo byabwe eby’akamalirizo ebya UNEB.
 
Zimbe omu ku bakulira bandi ya Barbed Wire Thong mw’akubira ebivuga eyabadde ayogeza ennaku yagambye nti wadde yayawukana ne Angella buli omu kati ali ku bibye, naye abaana bakyabagatta.
 
‘Vidiyo’ esaasaana, Angella y’eyagyekwatidde ku ssimu ye n’ekigendererwa eky’okugiweereza omwagalwa we gw’alina kati, kyokka nga tebabeera bombi.
 
Angella asooka kugamba nti: Osabye okundabako Baby…..Mmaze okunaaba……Nneeyama okubeera naawe n’okukwagala mu bulungi ne mu bubi………Anti ogambye oyagala okundabako, so kati….olaba ekifeesi kya mukazi wo bwe kyonoonese (alaga embalabe mu maaso), naye kijja kutereera.
 
Ayongera okugattako bino: Bwe njogera naawe onny……..(akubawo eggambo ezzito), kya bulijjo era nzenna nkulowoozezzaako ebbeere lyange lyonna ne li……(aggundawo eggambo eddala) aga Katonda mu ggulu, labayo (aggyayo ebbeere eryabadde mu nayiti aliraga). Nkujjiddeyeko katono; any-way kati ngenda kwebaka, nkwagala nnyo omulungi wange. Abaana bange bandabire (abaana b’omusajja), ka nkumulisizeeko kano katini (awenjula ebbina aliraga) Kkookoonyo! Goodnight.
 
Abantu abamu okuli bayimbi banne nga Evelyn Lagu baawagidde Angella nga bagamba nti kye yakoze ssi kivve, yabadde agezaako kulaga mwagalwa we omukwano ate ng’akikolera mu kisenge kye era ne banenya abaamubbyeeko essimu abagambibwa nti be basaasaanya akatambi.
 
Abalala obwedda bamugumya kyokka abamu nga bamunenya olw’okwekola ebiweebuula n’abissa ku ssimu ate n’atabisangulamu ne bimaliriza nga bigudde mu mikono gy’abantu abalala.
 
Angella yasoose kunnyonnyola Bukedde nti bwe yali akwata akatambi ako teyalina bigendererwa bibi, okuggyako eky’okusanyusa mukwano gwe eyali akamusabye, wabula ababbye essimu ye ku nkomerero y’omwezi oguwedde be baamutadde mu buzibu.
Yabagguddeko omusango gw’okubba essimu ku poliisi e Ntebe oguli ku fayiro SD/29/27/05/2017.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nambooze ng'ayogera eri abavubuka ba People Power e Mukono ku NUP.

Nambooze yeekokkodde abamwe...

Nambooze yeegobyeko abamwekukuutirizaako mu kalulu olumala ne bajeema.

Engeri gy'ofuna mu nkoko z'...

ENKOKO z’amagi zirimu ssente mu kiseera kino, naddala ng’ozirabiridde obulungi ne zitandikira mu budde obutuufu...

Hajji Musa ng'annyonnyola

Enkoko z'ennyama 100, zikuk...

NGA buli omu asala entotto ku ngeri gy'asobola okuyingiza akasente mu nsawo okuyita mu mbeera y'ekirwadde kya Corona,...

Akulira  Tourism board Lilly Ajarova ng'ayogera ku by'obulimi

Akulira Uganda Tourism boar...

Akulira ekitongole kye byobulambuzi mu gwanga ekya Uganda tourism board Lilly Ajarova akubirizza abalimi mu gwanga...

Omubuulizi Moses Tumwebaze okuva ku St.Stephen’s ng’akwasibwa ebbaluwa.

Bannaddiini balaze engeri g...

BANNADDIINI basanyukidde ekya Pulezidenti Museveni okuggulawo amasinzizo ne balaga engeri gye bagenda okuluhhamyamu...