TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Enkambi ya NRM yeetemyemu ku kalulu k'ekyaddondo; Owa NRM yeegasse ku Bobi Wine

Enkambi ya NRM yeetemyemu ku kalulu k'ekyaddondo; Owa NRM yeegasse ku Bobi Wine

Added 18th June 2017

Enkambi ya NRM yeetemyemu ku kalulu k'ekyaddondo; Owa NRM yeegasse ku Bobi Wine

 Bobi Wine ne mukazi we Babie nga banoonya akalulu.

Bobi Wine ne mukazi we Babie nga banoonya akalulu.

ENKAMBI ya NRM yeetemyemu mu kalulu ka Kyaddondo East, munnansiko Gertrude Njuba n’alangirira nti tagenda kuwagira Sitenda Ssebalu asazeewo asimbe emabega wa Bobi Wine.

Muky. Njuba yagambye nti wadde omusaayi gwe gwonna gujjudde NRM naye tagenda kuwagira Sitenda ekibiina gwe kyasimbyewo. Yasoose kuta kaka nti: Ne bw’anaaba ani, tewali agenda kutugamba kulonda Sitenda ne tukkiriza.

Ebyo ebiseera byali bya myaka gya 1960 gye baatugambira okulonda buli wa KY ne tukkiriza ne bwe yabanga mbwa! Ku mulembe guno, ekyo sijja kukikkirizza. Njuba eyasangiddwa mu ofi isi ye esangibwa ku Lumumba Avenue Plot 53 mu Kampala yagambye nti tayinza kuwagira muntu atalina nkulaakulana erabwako gy’akoze mu kitundu kye yamala ebbanga ng’akulembera.

Yayongedde okukissa ku Sitenda nti alina enkwe era yeenyigira ne mu mivuyo gy’akamyufu ka NRM mwe yawangulira kkaadi y’ekibiina. Sitenda mu kamyufu ka 2015 yawangula Stella Njuba muwala wa Gertrude Njuba.

Muky. Njuba yagasseeko nti ne bwe kinaaba kyetaagisa kumuwa kibonerezo lwa kuwagira Bobi Wine, mwetegefu okubonerezebwa kuba ekibiina kye ekya NRM kyasimbyewo omuntu gw’atakkiririzaamu ate nga n’engeri gye yawangulamu akamyufu ekyaliko ebibuuzo.

Yagambye nti, “Sitenda ne bw’anaaba awangudde, saagala kibeerewo nga ntaddeko ettoffaali lyange ne famire yange.” Bwe yabuuziddwa ebibatabula ne Sitenda, yategeezezza nti aludde nga ssi mwesimbu era n’ensimbi ze yalina okuliyirira Sam Kalega Njuba (eyali bba wa Gertrude Njuba) yatuuka kufa nga tazimuwadde era okuva lwe yafa mu December 2013 kati myaka ena (4) tazisasulanga.

Sam Njuba eyali Ssentebe wa FDC yali yawangula Sitenda mu kalulu ka Kyaddondo East aka 2006 kyokka Sitenda n’addukira mu kkooti wabula ne bamusingirayo era kkooti n’eragira Sitenda asasule Njuba ssente zonna ze yali asaasaanyizza. Sitenda bwe yatuukiriddwa yagambye nti Muky.

Njuba byonna by’amwogerako bya bulimba, kyokka n’atayagala kulambulula era n’abiwumbawumba nti; “Omuliro tebagwanukuza muliro.” Minisita Rosemary Ssenninde era omubaka omukyala owa Wakiso omu ku baakulembedde kaweefube w’okutwala Sitenda mu Palamenti yagambye nti nga bammemba b’ekibiina bagenda kutuula bateme empenda ezimatiza Muky. Njuba n’abantu be okuwagira omuntu eyasimbiddwaawo ekibiina kubanga eky’obutamuwagira kikontana n’enkola z’ekibiina.

Pulezidenti Yoweri Museveni asuubirwa okukuba enkuηηaana mu Kyaddondo East wiiki ejja okunoonyeza Sitenda Ssebalu akalulu era asuubirwa n’okutabaganya bannakibiina abaawaguse ku nkambi ya Sitenda.

Abantu basatu abatunuuliddwa ennyo mu kalulu kano okuli; Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) atalina kibiina mw’ajjidde, Sitenda owa NRM ne Apollo Kantinti owa FDC. Battunka mu miruka 9 era mu miruka egyo amaanyi ga Bobi Wine gali nnyo e Wampewo, Gayaza ne Kiteezi ate Kantinti ali nnyo mu Kabubbu ne Masooli, sso ng’aga Sitenda gali Bulamu ne Katadde.

Ensiitaano ey’amaanyi eri mu muluka gw’e Nangabo ne Wattuba. Abeesimbyewo abalala okuli; Nkunyingi Muwada ne Dr. Kayongo Male nabo engabo bagirumizza mannyo. Akalulu kakubwa June 29, 2017 ku bifo 93 ebironderwamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...