
Omulangira Kimera
FAMIRE ya Ssekabaka Daudi Chwa II basimbidde Buganda Land Board ekkuuli ku ssente obuwumbi 300 ze bagenda okusasulwa mu ttaka ly'e Masajja.
Baagala ssente zikwasibwe Kkooti Enkulu ssi aba Buganda Land Board.
Ekitongole ky’enguudo, UNRA kigenda okusasula abantu abali ku ttaka e Masajja awagenda okuyita oluguudo lwa Kampala Jinja Express Highway kyokka abalangira ba Ssekabaka Daudi Chwa ne Buganda Land Board basika omuguwa ku nannyini omutuufu.
Nga May 16, 2017 amyuka Ssaabawolereza wa Gavumenti, yawandiikira aba UNRA n'abagamba bakwase Buganda Land Board ssente zino.
Ekiragiro kino kyasaanudde Abalangira ba Chwa abakulembeddwaamu omulangira Kalemeera Kimera nti tebasobola kukkiriza ssente zino kugenda mu mikono gya Buganda Land Board ku ttaka eritali lya Kabaka oba Buganda.
Omulangira Kimera yagambye nti ekola ku nsonga z’amaka nga October 23, 2015, Ssaabawolereza wa Gavumenti n’aba famire ya Chwa bakkiriziganya nti ettaka ly'e Masajja lya Chwa.
Kyakkaanyizibwako nti, Chwa alinayo mayiro z'ettaka 250 era okukkaanya kuno kwassibwa ne kitabo kya Gavumenti ekitongole kya Uganda Gazette nga June 2, 2016.
Baggyeeyo n'ebbaluwa y’omumyuka w’omuwandiisi wa kkooti y’amaka Justine Atukwasa gye yawandiikira aba UNRA ne Ssaabawolereza wa Gavumenti nga May 8, 2017 ng'etegeeza nti, ssente zonna ezigenda okusasulwa ku ttaka ly'e Masajja ziteekebwa ku akawunti y’ekitongole Ekiramuzi, abantu abatuufu kwe bagenda okuziggya.
Wano abalangira we baasinzidde okuddayo mu Kkooti Enkulu eyimirize aba Buganda Land Board okukwata ku ssente zino nti kuno kuba butagondera biragiro bya kkooti.
Bagamba nti mu ndagaano ya 1900, Ssekabaka Chwa yaweebwa ettaka ng’omuntu ate lye yafuna nga Kabaka mu kiseera kino liri Mmengo mu mikono gya Buganda Land Board.
Erirye ng'omuntu tebalirinaako buyinza n'akatono.