TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bannayuganda abali ebweru w'eggwanga basabiddwa okujjumbira okugaba omusaayi

Bannayuganda abali ebweru w'eggwanga basabiddwa okujjumbira okugaba omusaayi

Added 23rd June 2017

Bannayuganda abali ebweru w'eggwanga basabiddwa okujjumbira okugaba omusaayi

Mulimira ng'agaba omusaayi

Mulimira ng'agaba omusaayi

BANNAYUGANDA ababeera  e Bungereza basabiddwa okujjumbira okuwangayo omusaayi n’ebitundu by'omubiri eby’omunda okugeza ng’ensigo n’ebirala kiyambe mu kutaasa obulamu bw’abantu abalala ababa babyetaaga.

“Waliwo abantu baffe bangi abalwala ebitundu bino ate nga tebalina busobozi bubigula ku buwanana kwe bibeera, n’olwekyo singa abazira kissa beewayo ne babitona, kijja kutaasa obulamu bw’abo abandibadde bafa”, Moses Mulimira bwe yategeezzza.

Moses Mulimira and Stephen J Morgan associate director international services

Mulimira akulira ekitongole ky’ebyobulamu ekya UK -Uganda health Alliance  okusaba kuno yakukoledde ku mukolo ogwategekeddwa mu kibuga London okutonera Uganda emmotoka  ssatu ezigenda okweyambisibwa mu kutambuza omusaayi abantu gwe baba bawaddeyo. 

Mmotoka zino ezibalirirwamu pawunda za Bungereza 200,000 (eza Uganda obukadde 950) zaaweereddwayo ekitongole ekivunaanyibwa ku by’okukunga abantu okuwaayo ebitundu by’emibiri gyabwe eby’omunda n’okubitambuza.

Akulira ekitongole kino Muky. Sally Johnson ye yakwasizza mmotoka zino eri  Muky. Prossy Namiiro eyakiikiridde omubaka wa Uganda mu Bungereza ku mukolo ogwabadde  mu Oxford Circus mu kibuga London.

Emu ku mmotoka ezatoneddwa Uganda

Muky. Johnson ng’ayogera eri abeetabye ku mukolo guno, yagambye nti  endwadde ezimu omuli nga nnalubiri ( sickle cells) zandibadde zisobola okuwonyezebwa awatali buzibu, singa abantu baali bajjumbira okuwaayo ebitundu by’emibiri gyabwe ebyomunda.

“Naye olw’okuba tebakikola, tusanze obuzibu bungi okufuna ebitundu bino okubiteeka mu balwadde ababeera babyetaaga”, Johnson bwe yategeezezza.

Kwe kusaba abantu okwongera okujjumbira okuwaayo ebitundu bino n’omusaayi kitaase obulamu bw’abantu mu nsi yonna.

Sally Johnson , Namiiro ne Mulimira.

Ate omwogezi ow’ekiseera ow’ettabi ly’ekibiina kya NRM mu mawanga g’ebweru Moses Kimuli agambye nti  mmotoka zino y’omu ku kaweefube w’obukulembeze bwabwe obukulirwa Mw. Patrick Asiimwe gwe bukoze mu kusakira Uganda okutumbula eby’obulamu bya Bannayuganda.

Moses Milimira ku (ddyo) akulira UK Uganda Health Alliance ne Sally Johnson akulira akitongole kya Bungereza ekivunaanyizibwa ku bitundu by'omubiri eby'omunda.

“Twasookera ku kuyamba poliisi ya Uganda mu kulwanyisa obubenje ku nguudo omutokomokedde Bannayuganda abangi, era tujja kugenda mu maaso n’okusakira Uganda ebintu ebirala bingi”, Kimuli bwe yategeezezza.

Na’agattako nti bino bituukiddwako olw’obumu n’obwerufu bye  balina ng’ aba NRM ababeera obweru wa Uganda.

Emu ku mmotoka ezatoneddwa Uganda

 

Kwe kusaba bannakibiina bonna abali mu mawanga g’ebweru okujjumbira okulonda  kw’obukulembeze bwabwe obuggya, okubindabinda nga beewandiisa n’okwewala abababuzaabuza kuba bingi ebituukiddwako mu kiseera ekitono wansi w’obukulembeze obw’ekiseera  obwa Mw. Asiimwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...

Abamu ku baffamire mu maka ga Maj. Mukasa e Kagoma.

Munnamagye eyayambako okule...

MUNNAMAGYE omulala, Maj. Gen. Eric Mukasa 60, eyakuba emmundu okuwamba enkambi y’e Kaweeweeta mu lutalo olwaleeta...