TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri omuwala eyazannya mu vidiyo ya Chris Evans gye yattiddwaamu

Engeri omuwala eyazannya mu vidiyo ya Chris Evans gye yattiddwaamu

Added 24th June 2017

“Wakati mu kulaajana, nawuulidde omusajja omu ng’agamba munne nti n’owa bodaboda wuuyo mukwate, wano kwe kuvuga sipiidi nsobole okusanga abaserikale be twayiseeko nga bali mu kulawuna ekyalo basobole okujja batuyambe

 Ayezibwe ne Chris Evans mu vidiyo ya Siritagala.

Ayezibwe ne Chris Evans mu vidiyo ya Siritagala.

Bya Martin Ndijjo ne Ponsiano Nsimbi

Ku ssaawa 8:00 mu kiro ekyakeesezza Olwokuna, Hellen Ayezibwe omuwala eyeekoledde erinnya olw’okukozesebwa mu vidiyo z’abayimbi okuzicamula ng’asembyeyo kulabikira mu ya Chris Evans ey’oluyimba lwa ‘Siritagala’ gye baakwata mu February w’omwaka guno.

Yakubidde owa bodaboda, Swaibu Kato atera okumuvuga essimu amusange ku bbaala we yabadde agenze okwewaamu.

Ono yabadde amuyita kumutwala waka kuba yabadde akooye ate nga n’obudde bugenze.

Kato akolera ku luguudo lw’e Busaabala okumpi ne Luwombo yavuze butereevu okugenda ku bbaala ya 2ways e Makindye okuliraana ne Pakalast Ayezibwe we yabadde.

Ayebazibwe nga bwabadde afaanana

 

Yalinnye bodaboda okudda ku Busaabala Road gy’asula era baabadde banaatera okutuuka ku ssundiro ly’amafuta era UPET w’aviirako okukkirira w’asula, yakubidde muganzi we, Oscar Kukiriza essimu eyabadde awaka ng’amutegeeza bw’anaatera okutuuka amuggulirewo oluggi.

Mu ddakiika mbale yabadde atuuse bodaboda w’emukomya ng’okuva wano ayita mu lukuubo okutuuka ku kkalina kw’apangisa kyokka yabadde yakatambulako ebigere bitono ekyadiridde kukuba nduulu nga bw’alaajana nti “Kato jjangu onyambe essimu yange bagitwala….”

Kato (ddereeva wa bodaboda) agamba Ayezibwe era ng’abadde mukozi mu dduuka eritunda ebyamasannyalaze e Wandegeya yagudde mu babbi abaabadde bayingiridde omu ku baliraanwa be (w’asula) era we yatuukidde ng’abamu bayingidde munda mu nnyumba abalala nga bali bweru kyokka teyasoose kubategeera ng’alowooza bantu ba mu kitundu okutuusa lwe baamukutte ne batandika okumunyagulula wabula wakati mu kubalwanyisa ne bamufumita ebiso.

“Wakati mu kulaajana, nawuulidde omusajja omu ng’agamba munne nti n’owa bodaboda wuuyo mukwate, wano kwe kuvuga sipiidi nsobole okusanga abaserikale be twayiseeko nga bali mu kulawuna ekyalo basobole okujja batuyambe” Kato agamba we yakomeddewo n’abaserikale ba poliisi baasanze ababbi bamaze okudduka nga ne mugazi wa Ayezibwe atuuse agezaako okusiba ekiwundu okutangira omusaayi omungi ogwabadde gumuvaamu.

Baamututte ku kalwaaliro akamu akali okumpi kyokka olw’embeera gye yabaddemu, abasawo ne babasaba omuntu waabwe (Ayezibwe) bamudduse e Nsambya mu ddwaaliro gye yafiiridde nga bakamutuusa.

Kalina Ayezibwe kw’abadde asula ku mwaliro ogusooka (awasonze akasaale).

 

Ramathan Kimera, Ssentebe wa Busaabala Rd Zooni, Ayezibwe mw’abadde asula yagambye nti obubbi bususse mu kitundu kyabwe wadde ng’olumu abaserikale bagezaako okulawuna kyokka batono.

Josh Manzi mwannyina w’omugenzi yategeezezza nti Ayezibwe yaziikiddwa eggulo e Kihihi mu disitulikiti y’e Kannungu.

Vidiyo z’abayimbi endala mwalabikidde mulimu eya Ngoloola (Ziza Bafana), Ssente zange (Mun-G), Leesu (Radio and Weasel), Nananana (Bebe Cool) n’endala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omugagga Ham eyakulembeddemu bannanyini bizimbe mu lukiiko ne Amelia Kyambadde

Bannanyini bizimbe balemedd...

AKAKIIKO kebassaawo okubaga ebinaagobererwa kisobozese okuggulawo akeedi z’omu Kampala kamalirizza lipooti eno...

Jackson Musisi kitunzi w'essaza lya Gomba ku kkono ng'akwasa Mansoor Kamoga obuvunaanyizibwa bw'essaza

Aba ttiimu y'essaza lya Gom...

OLUVANNYUMA lw’ Essaza lya Gomba okusaasaanya ssente empitirivu mu kugula abazannyi, abakungu baalyo bafunyemu...

Omutendesi Bamweyana ng'assa ku ndagaano omukono

Omutendesi Bamweyana olwega...

OMUTENDESI omuggya owa Wakiso Giants FC mu Star times Uganda Premier League, Douglas Bamweyana asuubizza omupiira...

Bryan White kati asizza ku ku byuma

Bryan White mulwadde muyi: ...

Bryan White mu kiseera kino asizza ku byuma amaze wiiki biri mu ddwaaliro ly'e Nakasero kyokka embeera ye ekyagaanye...

Kato Lubwama nga tebannamulongoosa

Omubaka Kato Lubwama bamulo...

OMUBAKA Kato Lubwama ( Lubaga South) amaze essaawa ssatu mu sweeta ng'abasawo bamulongoosa n'okumwekebegya omulundi...