TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Moses Mulimira aleese abakugu okwekenneenya eby'obulamu mu Uganda

Moses Mulimira aleese abakugu okwekenneenya eby'obulamu mu Uganda

Added 28th June 2017

Moses Mulimira aleese abakugu okwekenneenya eby'obulamu mu Uganda

 Munnayuganda Moses Mulimira owokusatu ku (kkono) eyakulembeddemu abakugu mu by'obulamu okuva e Bungereza ng'ali nabo ku ddwaliiro lya Gavumenti e Gulu ku (ddyo)  ye Kerrin Waite avunaanyizibwa ku nzirukanya y'emirimu mu  kitongole kya Bungereza ekya  NHS Global Health Exchange

Munnayuganda Moses Mulimira owokusatu ku (kkono) eyakulembeddemu abakugu mu by'obulamu okuva e Bungereza ng'ali nabo ku ddwaliiro lya Gavumenti e Gulu ku (ddyo) ye Kerrin Waite avunaanyizibwa ku nzirukanya y'emirimu mu kitongole kya Bungereza ekya NHS Global Health Exchange

MOSES MULIMIRA akulira ekitongole kya  Uganda UK Health Alliance e Bungereza yatuuse mu Uganda n’abakugu abalala mu by’obulamu okwekeneenya engeri gye bayinza okuyambamu okutumbula eby’obulamu mu ggwanga.

Mw. Mulimira nga mu kiseera kye kimu y’akulira eby’obulamu mu ttabi ly’ekibiina kya NRM e Bungereza, n’abakugu bano batuuse ku Lwokutaano oluwedde nga basookedde mu kafubo n’omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu Dr. Diana Atwine.

Munnayuganda Moses Mulimira owokusatu ku (ddyo) eyakulembeddemu abakugu mu by'obulamu okuva e Bungereza ng'ali nabo ku ddwaliiro e Gulu n'abamu ku basawo baamu. Asemba ku (ddyo) ye Jonathan Brown akulira eby'ensimbi mu kitongole kya Bungereza ekya NHS Global Health Exchange

Abalala abali mu kibinja kino ekyavudde e Bunegreza kuliko; Jonathan Brown akulira eby’ensimbi mu kitongole kya NHS Global Health Exchange mu Bungereza ne Kerrin Waite akulire eby’enzirukanya y’emirimu mu kitongole kino.

Nga bavudde mu kafubo kano bayolekedde disitulikiuti y’e Gulu  mu ddwaaliro lyayo ekkulu okwekeneenya abasawo abalikolamu n’obukugu bwe balina.

Mw. Mulimira ategeezezza nti eddwaliro lino lye bagenda okusookerako okweyambisa mu nteekateeka y’okuwanyisiganya abasawo wakati wa Uganda ne Bungereza.

“Ono yomu ku kaweefube gwe tukoze nga Bannayuganda ababeera ebweru okwongera okutumbula n’okuwagira eby’obulamu mu Uganda nga tuyita mu kubangula abasawo bffe n’okubasindikako e Bungereza okuvuna obukugu obusingawo ate n’abaayo tubaleeteko mu Uganda”, Mulimira bwe yagambye.

Munnayuganda Moses Mulimira akolera e Bungereza era nga yakulira ekitongole ky'ebyobulamu ekiyitibwa Uganda UK health alliance ng'ali ku ddwaaliro lya Gavumenti e Gulu

Ate Moses Kimuli akola ng’omwogezi ow’ekiseera ow’ettabi ly’ekibiina kya NRM ebweru wa Uganda, yagambye  ekibinja kino ekiri mu Uganda, kye kimu ku bibala by’obukulembeze bwabwe obukulira Mw. Patrick Asiimwe mu kaweefube waabwe owokuwagira enkulaakulana mu Uganda.

Yagambye  nti Mw. Asiimwe yasalawo okukwasa obuvunaanyizibwa obwebintu eby’enjawulo eri Bannayuganda abali ebweru okusinziira ku busobozi n’obukugu bwabwe  nga muno mulimu ; ebyobulamu, obulambuzi, okusikiriza abagagga okuzimba amakolero mu Uganda n’ebirala.

N’agattako nti bakugenda mu maaso n’okunoonyeza Uganda obuyambi obwenjawulo n’okunoonya abantu abasobola okuleeta ensimbi okutandikawo emirimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...