
Nsubuga ajjanjabwa mu ddwaaliro e Mulago
Abalumiziddwa kuliko Danson Nsubuga ow’e Manyangwa eyamenyese okugulu, Christopher Kaddu ow’e Ndazabazadde n'omuvubuka omulala atannategeerekeka mannya.
Nsubuga agamba nti baabadde batudde ku Elf, ttipa y'omusenyu e Manyangwa mu kisaawe nga bajaganya, emmotoka n'ebayiwa, abalala n’ebawalula.
Bino byabaddewo ku ssaawa 11:00 ez'olweggulo ku Lwokuna.
Abamu baatwaliddwa mu ddwaaliro e Kasangati kyokka nga tebafunye bisago byamaanyi.
Mmotoka eno yabadde eva Ndazabazadde kusomba musenyu.