TOP
  • Home
  • Agawano
  • Abadde avuga ng'atamidde akubyewo takisi ekigwo 14 ne baddusibwa mu ddwaaliro e Mulago nga bataawa

Abadde avuga ng'atamidde akubyewo takisi ekigwo 14 ne baddusibwa mu ddwaaliro e Mulago nga bataawa

Added 2nd July 2017

OLW’OKUBA omugoba wa takisi yabadde atamidde kondakita olwamugambye nti ayimirire omusaabaze aveemu yawulidde ng’amugamba yongeeza sipiidi okukakkana ng’akoze akabenje akalumizza abantu 14 ne batwalibwa mu ddwaaliro e Mulago nga biwalattaka.

 Abantu nga batunuulidde takisi eyakoze abakenje. EBIF: MOSES LEMISA

Abantu nga batunuulidde takisi eyakoze abakenje. EBIF: MOSES LEMISA

Akabenje kano kaguddewo ku nkya ya leero ku Ssande ku ssaawa  2 ez’oku makya  e Bwaise ku Ssatu mu minisipaali y'e Kawempe waguddewo akabenje nga kavudde ku mugoba wa takisi nnamba UAV 562R ebadde ava e Bweyogerere ng’edda Busega.

Kirowoozebwa okuba nga ddereeva abadde atamidde! Kondakita we olumugambye nti yimirire waliwo omusaabaze avaamu okumpi n’ekkanisa ya Christian Life Church, ate emmotoka agyongedde muliro okukakkana ng’emuwabyeko n'agisuula okumpi ne woteeri ya La Grade n'atomera omuvuzi wa bodaboda abadde eweese omusaabaze.

Omukazi eyafunye ebisago ng'addusibwa mu ddwaaliro e Mulago

Bo abasaabaze baggyiddwa mu takisi ng'embeera mbi ne baddusibwa mu ddwaaliro e Mulago okufuna obujjanjabi.

Baddereeva ba takisi abakolera ku siteegi y'e Busega baayanguye okuggyawo munnaabwe ne bamussa ku bodaoda ne bamuddusa okumutaasa ku bbiina ly'abantu abaabadde beesomye okumumiza omusu olw'okuvuga ng'atamidde.

Mu mutto gwa ddereeva mwasangiddwaamu amacupa ga bbiya agawera.

Amacupa g'omwenge agaasangiddwa mu mutto gwa ddereeva

 

Poliisi bwe yatuukidde ng’abalumiziddwa abazirakisa baamaze dda okubassa ku Bodaboda ne batwalibwa e Mulago mu ddwaaliro.

David Mukite (52) omusirikale ku poliisi  y'e Budaka  nga y’omu ku basabaze abaabadde mu takisi  eyasimattuse! Ono ategeezezza nti takisi eno yagirinyidde Bweyogerere ng’agenda Busega alyoke afune ezimutwala e Maganjo .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Kato nga bamwaniriza mu kigo ky’e Kamwokya.

"Musabire abakulembeze bamm...

KAABADDE kaseera ka ssanyu ate n’okunyolwa ku kigo ky’e Kamwokya, Abakristu bwe baabadde baaniriza Bwannamukulu...

Abakungubazi nga batunuulira ekifaanayi ky’omwana eyattiddwa.

Bawambye omwana ne bamutta

ABATEMU bawambye omwana ow’emyaka mukaaga ne bamutta mu bukambwe, omulambo ne bagwambulamu engoye. Rosemary Ngambeki...

Joseph Ssewungu (ku kkono) ne Latif Ssebaggala nga baliko bye babuuza minisita Jeje Odong (ku ddyo) ku lukalala lw’amannya g’abantu abatalabikako lwe yasomye mu Palamenti.

Ensonga z'ababaka 10 ezitan...

ABABAKA bawadde ensonga 10 lwaki tebamatidde lukalala olwayanjuddwa minisita w’ensonga z’omunda olulaga abantu...

Abaserikale nga batwala omulambo gw'omuwala.

Bagudde ku mulambo gw'omuwa...

ABATUUZE ku Kyalo Kakerenge mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso baguddemu ekyekango bwe bagudde...

Abatuuze nga baziika Ssali.

Amasasi ganyoose nga poliis...

Amasasi ganyoose nga poliisi y’e Wakiso egumbulula abatuuze abaaziikudde omulambo nga bagamba nti famire teyinza...