TOP
  • Home
  • Amawulire
  • UNEB etandike okukubira wano ebigezo - Palamenti

UNEB etandike okukubira wano ebigezo - Palamenti

Added 4th July 2017

AKAKIIKO ka Palamenti ak'ebyenjigiriza kasembye ekitongole UNEB okutandika okukubiranga wano ebigezo ne satifikeeti z’ababituula kiyambe okukendeeza ku ssente ze kisasaanya mu kukola omulimu guno.

Abakakiiko kano bagamba nti UNEB ky’ekiseera efune ekyuma ekyayo ekikubira wano ebigezo ne satifikeeti mu kifo ky’okubitwalanga mu mawanga g’ebweru kikendeeze ku bungi bw’ensimbi ze kisasaanya mu kubikuba.

'’ Obutaginga biwandiiko mu nsangi tebwesigame ku kubikubira bweru wabula ku liiso lyogi erikozesebwa okubikuuma obutabbibwa’’ ababaka ku kakiiko ka kano bwe baategeezezza  mu lipooti yabwe ekwata ku kiwandiiko kya bajeti ekirimu ebikolebwa n’ebitegekebwa okukolebwa minisitule y’ebyenjigiriza n’ekitongole kino mu mwaka gw’ebyensimbi ogutandise omwezi guno (July).

Abakakiiko baawadde amagezi gavumenti ewe ekitongole kino sente z’okugula ekyuma ekyayo ekikuba ebintu mu kyapa.

Ababaka era benyamivu nti gavumenti esasulira bayizi ba UPE ne USE bokka sente z’okukola ebigezo bya UNEB n’ereka abalala bangi mu bbanga .

Era ne bagamba nti kya nnaku nti ne bajeti ya UNEB ey’okutegeka ebigezo teyeyongera ng’ate omuwendo gw’abayizi ogwa bonna basome gweyongera buli mwaka.

Ababaka era baagambye nti kikyamu gavumenti obutandika ssente za bayizi ba UPE ne USE abagenda okukola ebigezo bya UNEB ku masomero kye bagamba nti kikaluubiriza entegeka z’ekitongole.

Ababaka era beemulugunyiza ku nsimbi ezisabwa amasomero  ga gavumenti amagundiivu nti zikyali waggulu ekiremesa abayizi abagezi abandisomeddeyo abava mu maka amaavu. Baayogedde nti amasomero gano tegalina binene bye bongera ku bizimbe nga tekyetaagisa nsimbi za ffiizi kukalaama zityo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...