TOP

Muka Ssebaggala, Gera Mosha afudde

Added 8th July 2017

Gera afudde nkya ya leero ku Lw’omukaaga ku ssaawa ssatu n’ekitundu.

Omugenzi Gera Mosha

Omugenzi Gera Mosha

 

 

Bya Ponsiano Nsimbi

GERA MOSHA MULIIRA ng’ono yaliko mukyala wa Seya Nasser Ntege Sebaggala afudde.

Gera afudde leero ku Lw’omukaaga ku ssaawa ssatu n’ekitundu ku makya. Afiiridde mu makaage e Muyenga ng’abasawo gye babadde bamujjanjabira.

Eyali bba, Sebaggala yategeezezza Bukedde ku Ssande nti mukwano gwe ono abadde atawaanyizibwa obulwadde bwa kkansa w’akataago era bamututte mu mawanga agatali gamu okuli South Afrika ne Amerika okufuna obujjanjabi. Nti kyokka bwe yanafuwa ennyo nga takyasobola kulinnya nnyonyi  kwe kusalawo okumujjanjabira awaka.

 

Gera ne Ssebaggala ku mukolo ogumu gye buvuddeko

Seya yannyonyodde nti baamala ne Gera emyaka 37 mu bufumbo okutuusa buli omu lwe yasalawo okukola ebibye. Tebezaalira baana wabula buli omu abadde alina abaana ababe. Gera abadde alina abaana mukaaga era bataano ku bo bali bweru wa ggwanga.

Ssebaggala agamba nti Gera ava mu famire ya Bamuliira  balooya abatendeke era y’omu ku baana abaggalanda.

Yayogedde ku mugenzi ng’omu ku bakyala abaakuguka ennyo mu kutunga ebiteeteyi eby’omulembe nga yabisomera  Bungereza.

Embeera y’okuluutinga bwe yayitirira mu Uganda, Gera eby’okutunga ebiteeteeyi yabivaako ne bateesa ne bba Seya batandikewo bizinensi y’okutunda emmere enyangungu (Fast foods).

 

 

 

Emu ku wooteeri za Gera eya Bon Apetit mu kibuga

Baagitandika era n’agituuma Bon A petit nga w’afiiridde ng’ekyaliwo era erina amatabi agasukka mu 9 mu kibuga wakati.

Mutabani w’omugenzi Mart Mosha gwe tusanze mu maka g’omugenzi e Muyenga atutegeezezza nti bakyakola ku nteekateeka naye n’asaba famire eweebwe obudde yeetereeze.

Sebaggala yagambye nti enteekateeka zonna zaakwanjulwa ng’abaana abali e Bulaaya batuuse.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...