
Abatuuze n'abaserikale nga beetegereza entaana ya Kakoma (mu katono) eyabadde esimibwa.
Bya Rogers Kibirige
ENTAANA y’eyayiiya oluyimba lw’eggwanga, Polof. George Wilberforce Kakoma emaze n’esimulwa ne basanga ng’omulambo gwe mweguli kyokka ng’ekitundu ky’omutwe ekya waggulu ekibikka obwongo kyaggyiddwaako ne kitwalibwa.
Kino kyaddiridde omulamuzi Martins Kirya owa kkooti y’e Wakiso okuwa bamulekwa b’omugenzi Kakoma okuli; Ruth Kakoma ne Paul Kakoma Lwanga ekiragiro kya kkooti ekibakkiriza okutaataaganya entaana okuzuula oba ddala omulambo gwa Kitaabwe mweguli mu ntaana oluvannyuma lw’abantu abatamanyiddwa okugenda mu kiro ekyakeesa Olwokusatu ne bagisima.
Omulamuzi Kirya yalagidde poliisi y’e Wakiso okuwa aba Famire obukuumi nga basima entaana era bambega baayo bakole okunoonyereza nga abanaazuulbwa nga beenyigidde mu kusimula entaana ya Kakoma awatali lukusa lwa kkooti, bakwatibwe era bavunaanibwe bunnambiro.
Entaana bwe yasimiddwa nga kkooti bwe yalagidde, abaserikale ba poliisi baayise aba famire okwabadde ne bamulekwa b’omugenzi n’omulamuzi Gladys Nakibuule ne bakka wansi mu ntaana okwetegereza omulambo gw’omuntu waabwe kyokka omulambo gwasangiddwa nga keesi abaasimula entaana mu bubba baagyasa era nga kati bagenda kuddamu kumuziika buto.
Mu kusooka, Namwandu Mary Tereeza Kakoma eyajjidde mu mmotoka Pajero Mitshubishi nnamba UAZ 200L yabadde tayagala ntaana esimwe ng’agamba nti ye akakasa nti omulambo mweguli era ng’ayagala bazibe buzibi kituli kyokka DPC n’amutegeeza nti bakolera ku kiragiro kya kkooti.
Ruth Kakoma bwe yakubye eriiso ku mulambo gwa kitaawe nga gwaggyiddwako ekitundu ky’oku mutwe ekibikka obwongo nga n’obwongo tebuliimu, n’atulika n’akaaba nga bwe yeewuunya abantu b’ensi abaakoze ekikolwa kino.
Yabakolimidde ng’agamba nti badda batya ku muntu eyawummula edda ne bamumalako eddembe kyokka nga kitaawe teyalina mutawaana na muntu yenna!
Ate ye Paul Kakoma Lwanga nga naye mulekwa, yagambye nti ekitundu ky’omulambo gwa kitaawe eky'oku mutwe kyabbiddwa ekyamutabudde n’akukkulumira poliisi olw’obutabatwalira musawo waayo, Dr. Byaruhanga kwongera kukakasa kino ne yeebuuza nti; "Oba emimwa n’ennyindo kwebiri lwaki ate ekitundu ky’omutwe eky'akawanga tekiriiko?
Waliwo omukazi eyategeerekeseeko erya Damalie nga naye wa Famire eyalinnyiddwako ebigambibwa okuba omuzimu gwa Mwannyina wa Kakoma, Norah Nababinge n’atandika okwerogozza nga bwalumiriza aba famire okuba nga mwemuli abeeraguza era nga be baasimye entaana mu bubba okubaako bye bakola ku mulambo era n’ategeeza nti bwe bataakomye kweraguza, bajja na kwetta.
Ye aduumira poliisi mu Wakiso, Justus Tashobya yategeezezza nti baawadde obukuumi nga kkooti bwe yabalagidde era omulambo ne basanga nga mweguli nga kati ekisigalidde kya kuddamu kuziika mulambo gw’omugenzi obulungi nga bwe wabaawo aliko kye yeemulugunya alina kuddayo mu kkooti n’akola okusaba okulala.