TOP

Ssebaana n'ebigambo ebinaamujjukirwako

Added 9th July 2017

EKISEERA John Ssebaana Kizito ky’amaze ku nsi, abadde musajja abadde tawulira muntu amwogerako kibi n’atamwanukula.

 John Ssebaana Kizito

John Ssebaana Kizito

Bya KIZITO MUSOKE

 

EKISEERA John Ssebaana Kizito ky’amaze ku nsi, abadde musajja abadde tawulira muntu amwogerako kibi n’atamwanukula. 

Obutafaanagana ng’abantu abamu abalina enkola y’okwebalama okwanukula ebibuuzo bya bannamawulire, ku ye talina mulundi gwe yalemwako kuddamu kibuuzo. Tukuleetedde embeera ezimu mwe yalina okubaako by’ayanukula ku byabanga bigenda mu maaso. 

 BWE yali akyali meeya wa Kampala, Pulezidenti Museveni yamunenya olw’okukyafuwaza ekibuga ne kituuka okujjula ensowera. Ssebaana teyamuleka kugendera awo, yamwanukula n’amutegeeza nti;

“Ensowera zaagala nnyo amata ate mpulira nti gali eyo mu State House e Nakasero. Bwe wabaawo ensowera ezizungira mu Kampala, zandiba nga ziva eyo awali amata”. 

Lumu, yali mu lukiiko lw’ekika ky’Emmamba Kakoboza e Lugala-Kasubi ne wabaawo omuvubuka eyasituka n’ategeeza nga bw’asanyuse okumulaba kuba yali tamulabangako. Sebaana yawanika omukono n’amwanukula nti;

“Ssebo bw’ogamba nti obadde tolabanga ku Ssebaana Kizito , ky’ogamba tolina ttivvi wuwo?” 

Olulala era ng’ali mu lukiiko lw’ekika, waliwo omuvubuka eyali amwogerako n’agamba nti; “Ssebo Mw. Ssebaana Kizito eyaliko meeya wa Kampala, Ssenkagale wa DP….”. Aba akyeyongerayo Ssebaana n’amuyimiriza n’agamba nti;

“Ssebo nsaba oyogere kimu Ssebaana Kizito, kuba abamu bwoyogera bye tubadde mu nsi tuyinza okumalako olunaku lwonna nga twogera bye tubadde mu nsi.” 

Mu 2006 bwe yali yeesimbyewo ku bwa pulezidenti yagamba nti; abeesimbyewo ku bwapulezidenti tuli mukaaga, kyokka eyasoma ebyenfuna ndiko omu. Bw’oba oyagala anaakuggya mu bwavu, ndowooza otegedde gw’olina okulonda. 

Lumu bwe yali mu kakiiko ka palamenti n’abuuzibwa ku by’okutunda poloti mu ppaaka enkadde, yaddamu:

Bwe muba mugamba nti nakola kikyamu okutunda poloti ku ppaaka enkadde ne ngulamu ettaka ly’e Kyanja we bayigiriza ebyobulimi eby’omulembe, musobola okung’amba ne mbaddiza obukadde 600 ze nakozesa ne ntwalamu ettaka. 

Mu 2001, Naava Nabagesera, eyaliko omuwi w’amagezi owa pulezidenti yalangirira nga bwe yali agenda okwesimbawo ku bwa meeya bwa Kampala. Ssebaana yamwanukula n’ategeeza nti;

“Mmunnange oyo alina okukimanya nti tetuli mu mpaka za bwannalulungi, bino byabufuzi bya kuweereza bantu”. 

Lumu yabuuzibwa abamawulire okugeraageranya obukulembeze bwe ku bwa Loodi Meeya Erias n’agamba nti; “Nze we nabeerera meeya wa Kampala, nalina emikwano mingi egya NRM era nga bano baali bawagira nnyo emirimu gyange mu kanso obutafaanana nga Lukwago. Kye mulina okumanya, tuli bantu ba njawulo.” 

Lumu mu 2015 bwe yabuuziddwa abamawulire oba yalina kye yejjusa mu bulamu, yaddamu:

“Tewali kye nejjusa mu bulamu, kuba Katonda ampadde kumpi buli kimu kye nneetaaga. Ampadde obuwangaazi, nasoma ne nfuna omulimu. Kumpi nkoleddeko mu ofiisi ez’amaanyi zonna mu ggwanga. Naliko minisita, meeya, pulezidenti wa DP, omubaka wa Palamenti okumala emyaka 16, kansala wa KCCA nga ne mu kiseera kino ndi memba wa lukiiko lwa Buganda”.

 

Lumu bwe yabuuzibwa enjawulo ya DP ku bibiina ebirala, yategeeza nti:

“ekibiina kya DP kikozesa Brain Power. Abalala we bakozesereza eryanyi ku nsonga, ffe tuteekawo bwongo nga kiggwa.”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....