TOP

Ow'emyaka 5 eyabbibwa bamuzudde

Added 13th July 2017

OMUKAZI eyabba omwana wa mukwano gwe n’amukweka okumala emyezi esatu bamusanze amukukusa e Bweyogerere.

 Nakayiza n’omwana gwe yabadde abbye. Kino ekifaananyi baakimukuba akyalidde mukwano gwe maama w’omwana.

Nakayiza n’omwana gwe yabadde abbye. Kino ekifaananyi baakimukuba akyalidde mukwano gwe maama w’omwana.

Bya MADINAH NALWANGA NE TONNY KAYEMBA

OMUKAZI eyabba omwana wa mukwano gwe n’amukweka okumala emyezi esatu bamusanze amukukusa e Bweyogerere. Justine Nakayiza 22, eyali abeera e Bweyogerere mu Kigandaazi Zooni, yabba Mercy Kisaakye 5, omwana wa mukwano gwe Flavia Kisaakye 28, n’amutwala e Tororo n’abeera naye okumala emyezi esatu. Kisaakye yategeezezza nti, “nakomawo okuva ku mulimu ne nsanga muwala wange nga taliiwo.

Omwana gwe yali azannya naye yantegeeza ng’omusajja gwe bayita Kenya bw’amuvuze ku pikipiki n’agenda naye. Nasalawo okwanguwa okutegeeza poliisi era omuyigo gw’okumunoonya ne gutandika nga tumaze emyezi essatu nga tumunoonya.”

Justine Nakayiza eyabbye omwana yakkirizza eky’okubba omwana n’agamba nti omusajja wa bodaboda Kisaakye gwe yali akozesa okutuma emirimu ye yamubba n’amumusanza ku ttaawo e Bweyogerere.

Yategeezezza nti Kenya ng’amannya ge amatuufu ye Patrick Odema yamulagira okumumutwalira ewa maama we (Kenya) e Tororo. N’agamba nti okuva olwo abadde abeera Tororo n’omwana.

N’agamba nti okusalawo okumuddiza nnyina, maama wa Kenya yabadde abagobye ng’agamba nti talina ky’abaliisa era baagenze okumukwata ng’anoonya Kisaakye amuddize omwana we.

“Ekinnuma Flavia abadde mukwano gwange nga ffenna abaana baffe bacootala era simanyi sitaani gye yava okubba omwana”, bwe yategeezezza ng’agezaako okwetaasa ku bantu abaabadde baagala okumugajambula.

Ahmed Mukiibi, omu ku baasoose okulaba omwana ono yategeezezza nti baabadde ku siteegi, omukyala ono ng’alina omwana era abaabadde bamumanyi ne bagamba nti omwana yamubba ne bamukwata ng’alinnye bodaboda adduka.

Timothy Kalyango eyabadde avuga bodaboda Nakayiza kwe yabadde addusiza omwana yagambye nti teyasoose kumanya nti abantu bagoba ye wabula yagenze okuwulira ng’omukyala amugamba nti, ‘yongeza sipiidi, nja kukuwa 100,000/-’, n’amanya nti waliwo omutawaana n’ayimirira.

N’agamba nti Nakayiza olwavudde ku bodaboda n’adduka kyokka abantu ne bamukwata ne batandika okumukuba era poliisi ye yamutaasizza. Avunaanyizibwa ku nsonga z’amaka n’abaana ku poliisi e Bweyogerere, Sarah Ayebale yategeezezza nti omusango gw’okubula kw’omwana guli ku fayiro nnamba SD REF. 45/26/05/217.

Atwala poliisi y’e Bweyogerere, Karim Magid yategeezezza nti Nakayiza bagenda kumuggulako omusango gw’okubba omwana.

N’agamba nti baagala okumanya ekigendererwa ky’okutwala omwana e Tororo era n’agenda naye.

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu