
Olusuku olwayokeddwa
Bya Pascal Lutabi
Poliisi mu Disitulikiti Lyantonde eri ku muyigo gw’omuvubuka eyakumye omuliro ku lusuku lw’amugandawe.
Twaha Kayiwa omutuuze ku kyalo Kalagala e Lyantonde yanoonyezebwa poliisi ng’alangibwa ku kuma muliiro ku lusuku lw’amugandawe, olusangibwa kukyaalo Kalagala ekiri mu muluuka gwe Lyantonde Rural .
Okusinziira ku Baker Ssebuliba gwe bayokereza olusuku yategezezza Bukedde ng’entaalo z’ettaka ze balina Kivumbi bweziyinza okuba nga zezaviriddeko okwokya olusuku lwe, oluli ku bugazi bwa yiika
mukaaga.
Baker agamba nti balinawo embiranye wakati waabwe nga ziva ku ttaka erikaayanirwa, kitaabwe lye yabawa.
Omutuuze Tanansi Mujuzi, yategezezza nti yasanze Kayiwa ngali n’abaana be okumpi n’olusuku lwa mutoowe, Ssebuliba, ngalukumako omuliro, bweyabade alunda enteze ku ttale eririraanyewo, era olwamulabye neyemulula nadduka.
Olive Namulema muliraanwa wa Ssebuliba , yategezezza nga bwe bagezezzaako okudduukirira bazikize omuliiro naye nga teguzikira okutuusa olusuku lwonna bwe lwawedewo.
Akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Lyantonde Yunus Kayanja yategezeza nga poliisi bweri ku muyigo gw’omusajja ono, eyadduse, era ng’agamba nti bwanakwatibwa ajjakuvunanibwa.