
Entaana eyasimuddwa
Bya Yudaaya Namyalo
Aboluganda okuva mu famre ya Stanley Katende kukijja kya Ssekajjwanga ekisangibwa e Nkumba mu disitukiti ye Wakiso basattira olw’okusanga entaana y’omujjwa waabwe Tina Nalukwago eyazikibwa mu 2010 ng’ezikuuddwa oluvannyuma lw’omukuumi w’ekijja ekyo Joyce Namukasa Naganda okweewa obuyinza natunda ettaka ly’ekijja.
Awaazikibwa omugenzi weyatadde ekkubo nasimula eddaalo lya Nalukwago namuziika okumpi nabafu abalala ekintu ekikontana n’obuwangwa bwabwe.
Mu Buganda omujjwa aziikibwa ku nkomerero ya kijja. Namukasa yabadde atunze ku ttaka lino ng’ayagala kukola kkubo lya poloti zeyabadd asaze.
Aba famire batemezeddwako ne bajja bukubirire ne era baasanze entaana nkalu. Ekijja kino kituula ku yiika 30.
Namukasa akuuma ekijja yabatebuse nadduka.