Massa wakati mu Mpaka za AFCON
Awasonze akasaale, mmotoka ya Massa we yatomedde nga bamaze okugikuba amasasi.
EGGULO (Lwakuna) amawulire ga Geoffrey Massa, (eyali kapiteeni wa Cranes), okukubwa amasasi ne mukwano gwe omukazi, gaakedde kusaasaana.
Okukubwa kyaddiridde abaserikale ba poliisi okwekengera
mmotoka eyabadde esimbiddwa ku mabbali g’oluguudo okuliraana
Northern Bypass, ne basaba abaagibaddemu okuggulawo babeeko bye bababuuza.
Poliisi yategeezezza nti mu kifo ky'okugondera ebiragiro byayo, abaabadde mu mmotoka baagisimbudde ne badduka, ekyabawalirizza okugiwerekeza amasasi bagiyimirize.
Mu kavuyo kano, amasasi we gaakwasirizza omukazi, ne Massa n'akuba omutwe ku ndabirwamu.
Bombi baatwaliddwa mu ddwaaliro lya Ggwaatiro e Bweyogerere.
Mmotoka ya Massa gye baakubye emipiira. Wano yabadde ku poliisi e Bweyogerere.
Massa y'ani?
- Mu March, ku myaka 31,eyali kapiteeni wa Cranes ono, yalangirira nga bw'annyuse okugisambira, oluvannyuma lw'okugiduumira mu mpaka za AFCON ezaabadde e Gabon.
- Mutabani wa Wilson Mulasha ne Margret Watisemwa ab'e Buduuda mu Mbale.
- Mufumbo ne mukyala we Majorine Nabulime gwe yasisinkana
- mu 2007 era balina abaana basatu, Judith Massa, Henry Massane Faith Massa. Babeera Kisaasi.
- Yasomera Walukuba West, JIPA ne St Kizito e Namugongo.
- Omupiira yagutandikira mu Red Stars e Walukuba, Wawa FC, ne UTODA e Jinja.
- Yatandika okumanyibwa mu 2005 bwe yeegatta ku Police FC
- n'akwatagana ne Martin Muwanga, bwe baateeba ggoolo ezaagiyamba okuwangula ekikopo kya liigi omwaka ogwo.
- Mu mwaka gwe gumu mwe yatandikira okuzannyira Cranes bwe yayitibwa mu ttiimu eyali egenda okuzannya mpaka za LG Cup e Misiri.
Ttiimu zazaanyidde:
2004 - 2005: Police FC
2005 - 2007: Al-Masry
2007 - 2008: El-Shams
2008 - 2009: Jomo Cosmos
2009 - 2011: Itesalat
2011 - 2013: Yenicami Agdelen
2013 - 2015: Univ.of Pretoria
2015 - 2016: Bloemfontein Celtic
2016 - Baroka
NAMBOOLE, kye kimu ku bisaawe Geoffrey Massa by’asinze okukoleramu erinnya.
Yateeberamu Lesotho ggoolo bbiri nga Cranes ewangula 3-0 ate era n’ayulizaamu akatimba bwe yasindirira ennyanda eyalinga essasi n’enywa nga Uganda etimpula Congo Brazzaville (4-0).
Ku Lwokusatu, Massa kata afiire ku kisaawe kye kimu nga ku luno amasasi baabadde bagawerekereza ye.
Ye ‘mukwano gwe’ omuwala gwe yatutteko e Namboole, apooca na biwundu olw’essasi eryamukutte ku ago poliisi ge yawereekerezza mmotoka mwe baabadde, ng’ebayimirizza ekiro ne bagaana.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Emiliano Kayima yannyonnyodde eggulo nti amasasi mu ba Massa gazze oluvannyuma lwa poliisi okwekengera mmotoka eyabadde esimbiddwa ku mabbali g’oluguudo okumpi n’ettaawo ly’e Namboole ku Lwokuna ekiro.
Poliisi bwe yasembedde okulaba ekituuse ku mmotoka eno, abagirimu baasimbudde busimbizi kapaalo era kwe kugiwereekereza amasasi agaalumizza omuwala Josephine Maliza (25) eyagibaddemu.
Oluvannyuma Massa yagisibye omulundi gumu n’abulako akatono okutomera owabodaboda ekyamuviiriddeko okukuba omutwe ku ndabirwamu n’afuna olubale.
Oluvannyuma Massa n’omuwala baatwaliddwa mu ddwaaliro lya Ggwaatiro e Bweyogerere okufuna obujjanjabi.
Mu February, Massa yannyuse okuzannyira Cranes amangu ddala nga yaakamala okugiduumira mu mpaka z’Afrika e Gabon.