TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebisale by'eddwaaliro lwe bifuuka kagumba weegoge!

Ebisale by'eddwaaliro lwe bifuuka kagumba weegoge!

Added 14th July 2017

Prossy Nalubega, omutuuze we Kyabakuza - Masaka atubidde n’ebbanja ly’eddwaaliro e Nsambya, oluvannyuma lw’okujjanjaba bba Kizito Nsubuga ne babawa bbiiru ya bukadde munaana!

 Sserwanja ng’ajjanjaba Kizito e Luwafu. Yava e Nsambya nga bamubanja bukadde.

Sserwanja ng’ajjanjaba Kizito e Luwafu. Yava e Nsambya nga bamubanja bukadde.

Bya KIZITO MUSOKE, PROSSY NABABINGE, DEBORAH NANFUKA ne SAMSON SSEMAKADDE  

Prossy Nalubega, omutuuze we Kyabakuza - Masaka atubidde n’ebbanja ly’eddwaaliro e Nsambya, oluvannyuma lw’okujjanjaba bba Kizito Nsubuga ne babawa bbiiru ya bukadde munaana!

Abazigu baabalumba, bba ne bamutema ebijambiya nga March 31, 2017 ne bakuuliita n’obukadde busatu.

“Baasooka kumuddusa mu ddwaaliro e Masaka gye baamuggya okumuzza ku Case Clinic mu Kampala ne bamulongoosa akawanga ne batuggyako obukadde 14. Twamala kutunda kibanja okuzifuna,” Nalubega bwe yalombozze.

Omulwadde baasooka kumukwatira mu ddwaaliro e Nsambya olw’okulemwa okusasula obukadde munaana.

Kyokka oluvannyuma lw’okusasulako baabakkiriza okudda eka kuba ebisale byali byeyongera buli olukya.

Nalubega yagambye nti abaana tebakyasoma, batudde waka. Kuliko owa S4 n’ali mu P2. Asabye obuyambi ng’obuyisa ku nnamba 0753220895 oba eya muganda we Asuman Sserwanja 0779692061.

Kati Kizito ajjanjabibwa mu maka ga muganda we Asuman Sserwanja e Luwafu-Makindye oluvannyuma lw’ebisale by’eddwaaliro okubalema.

Bano si be bokka abakaaba ebisale by’amalwaliro. Obutafaanana ebintu ebirala, ku bujjanjabi tewaba kuteesa, teri kulamuza.

Robert Kamira ng’ali mu kasenge e Mulago. Baamulongoosezza omutima mu Uganda Heart Institute ku bukadde 8 ne zimulemerera.

 

GWE BAALONGOOSA OMUTIMA BAMUKWATIDDE E MULAGO

Omulwadde w’omutima alongooseddwa ne bamukwatira mu ddwaaliro e Mulago oluvannyuma lw’okulemererwa okusasula 8,000,000/-.

Robert Kamira 40, omutuuze w’e Kidiki e Namwenda mu Busoga, y’ali ku buzibu buno.

James Senyonga, mutabani wa Kamira yagambye nti baaweebwa ekitanda ku Uganda Heart Institute nga June 19, 2017.

Omulwadde baamuteekamu akuuma akamuyambako okussa obulungi.

Mu kujja mu ddwaaliro, sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga yali abasuubizza okubasasulira ebisale, kyokka balesemeddwa okumulaba. Nabo basaba buyambi ku ssimu zino 0756108987 oba 0757657270.

GWE BAALONGOOSA N’AVUNDA AJJANJABIRWA WAKA LWA KUBULWA SSENTE

Zaina Nantambi ow’e Nakaseke, bwe yalumwa olubuto yayanguwa okugenda mu ddwaaliro kuba n’emyezi omwenda egy’okuzaala gyali gituuse.

Yalina emitwalo 30, kyokka bwe yatuuka mu ddwaaliro e Nakaseke, abasawo ne bamutegeeza nti waakulongoosebwa.

Bwe yamala okulongoosebwa olubuto lwatandika okumuluma n’okusesema, ekyawaliriza abasawo okumwongerayo e Kawempe gye baamuggya okumutwala e Mulago.

Eddagala lye baamugamba okugula erijjanjaba olukindo oluvunze lyali lya mitwalo 36 buli lunaku.

Abooluganda n’emikwano beesondamu obukadde bubiri, kyokka zaakola ennaku ssatu ne ziggwaawo.

Abooluganda baawalirizibwa okumuzza mu kyalo nga June 1, 2017 nga ssente z’eddwaaliro tebaazisobole. Gyali e Nakaseke, buli lunaku akozesa eddagala lya mitwalo 12! Ali ku ssimu 0704219659.

Zainah Nantambi ow’e Nakaseke, ajjanjabirwa waka oluvannyuma lwa ssente z’eddwaaliro okumulemerera.

 

OMWANA KATI OGULA MUGULE

Kampala Hospital: Omukazi nga tannazaala asasulayo emitwalo 43 ku lunaku lw’asooka okugendayo olwo n’afuna ekipande. Zino ze bakozesa n’okumukeberako buli lw’aba akomyewo mu ddwaaliro. Bw’osalawo okukyusa eddwaaliro, zino tebazikuddiza.

Bw’ozaala obulungi osasula 850,000/-ate ow’okulongoosa asasula 1,990,000/-. Kuno bwe kubaako okusula, mu kasenge ak’omu ziba 2,140,000/-, ‘Private’ osasula 2, 290,000/-, Private Executive 2,590,000/- ate ayagala VIP 2,890,000/-

Azadde obulungi naye alina ssente ezeeyongeramu okusinziira ku kifo ky’asuzeemu. Zino ziggweera wakati wa 1,090,000/- ne 1,500,000/-

Ekisenge ekyenjawulo kibaamu entebe, ttivvi yinsi 42, firiigi ne ‘microwave’. Kya 1,590,000/- ng’okibeeramu ng’ali ewuwo! Kibuli Hospital: Okuzaala obulungi emitwalo 35 - 60, okulongoosebwa kwa mitwalo 90 - 1,200,000/- ate ekipande kya 20,000/-.

Paragon Hospital, Bugoloobi: Okuzaala obulungi 850,000/-, okulongoosebwa 1,600,000/-.

Kisubi Hospital: Ekipande ky’owoolubuto ali mu ‘Private’ kya 100,000/-, kuno kwogatta 20,000/- buli lw’okomawo okulaba dokita. Okuzaalira mu lukale kwa 60,000/-ate buli lw’oddayo osasula 5,000/- okulaba omusawo.

Mulago Hospital (Private): Okuzaala obulungi ziri wakati wa 500,000/- ne 800,000/- ate okulongoosa kiri wakati wa 1,600,000/- ne 2,000,000/-.

IHK, Namuwongo: Okulaba omusawo osasula 25,000/- kyokka okulaba omukugu osasula wakati wa 50,000/- ne 70,000/-. Bw’oba toyagala kwebonyabonya, asasula 500,000/- omulundi gumu nga tonnaba kuzaala.

Zino ze bakozesa okukukebera buli lw’ojja mu ddwaaliro. Bw’ozaala obulungi osasula 1,500,000/- ate okukulongoosa osasula wakati wa 2,500,000/- ne 3,000,000/-.

Atali ku bya kuzaala, okulongoosa kuli wakati wa mitwalo 70 n’obukadde 10.

St. Raphael of St. Francis Nsambya: Osasula 128,000/- ku mulundi ogusooka omukyala ng’azze mu ddwaaliro. Zino kubeerako 50,000/- okukuwandiika, okukebera endwadde eziri mu musaayi 25,000/-, okuzuula ekika ky’omusaayi 25,000/- n’ebirala.

Bw’ozaala obulungi osasula 845,000/- nga wano obeera togabana kasenge na mulwadde mulala. Bwe mugabana akasenge osasula 806,000/-.

Okulongoosebwa osasula 2,100,000/- ng’osuze mu kasenge kako wekka, ate bw’ogabana akasenge n’omuntu omulala osasula 1,870,000/-.

Kyokka bw’ozaala obulungi ng’oli mu lukale osasula emitwalo 40, ate okukulongoosa osasula okuva ku 1,100,000/- n’okudda waggulu.

Ku ssente ezo waggulu, nnakawere akkirizibwa okumala olunaku lumu mu ddwaaliro, ng’azadde bulungi. Alongooseddwa bamuwa ennaku nnya.

Lwe baggulawo ekifo we bajjanjabira abalwadde b’akafuba e Nsambya.

 

Lubaga Hospital: Osooka kusasula 72,000/- ez’ekipande. Zino zizingiramu okukukebera okumala emirundi mukaaga gy’ojja mu ddwaaliro nga tonnazaala.

Kyokka singa olwala egisukka emirundi omukaaga, olina okwongerayo ssente.

Okuzaala obulungi osasula wakati wa 350,000/- ne 700,000/. Bwe bakulongoosa bakuggyako wakati wa 950,000/- ne 1,500,000/-. Bw’oba toli waakulongoosa osooka kusasulayo emitwalo 20 nga tebannakukwatako.

Bw’oba waakulongoosa osooka kusasula 600,000/-. Bw’oba oyagala kulabirirwa mu ngeri ey’enjawulo waliwo ssente z’osasulayo. Akasenge omuli kaabuyonjo n’ekinaabiro buli lunaku osasula 80,000/- ate omutali osasula 50,000/-.

Mengo Hospital: Okuzaala obulungi mu lukale ziba 350,000/-, okukulongoosa mu lukale 1,060,000/-, okuzaala nga mugabana akasenge osasula 650,000/-, okulongoosebwa nga mugabana akasenge osasula 1,600,000/-, okuzaalira mu kikungu (waadi ya Annie Walker) ziba 900,000/- ate bwe bakulongoosa ziba 1,900,000/-.

Kawempe General Referral Hospital: Okuzaala obulungi 500,000/- (Private), okulongoosebwa 2,000,000/- okudda waggulu. Waliwo ne ssente abalwadde ze basasula omusawo ezenjawulo era nga teziragibwa mu bisale by’olina okusasula.

Zino zisobola okuva ku mitwalo 20 okutuuka ku kakadde okusinziira ku ntegeeragana ne dokita.

LWAKI AMALWALIRO GASEERA Dr. Ian Clarke, owa International Hospital Kampala (IHK) e Namuwongo yagambye nti ebikozesebwa mu malwaliro bya buseere.

Endwadde ezimu zeetaaga obukugu bwa maanyi n’ebyuma bigula obukadde obusoba mu 200.

Dr. Nelson Mutyaba Agalyawamu, owaamawulire mu kibiina kya Kampala Private Medical Proffessional Association mu ttabi ly’e Lubaga, yagambye nti wadde waliwo abasawo abaseera, kyokka mulimu abalwadde abakyenyumirizaamu.

Yagambye nti mulimu abalwadde abaagala ennyo amalwaliro ag’ebbeeyi, ne balekawo aga layisi.

Embeera eno yagigeraageranyizza n’amasomero, kuba mulimu abazadde nga bw’aleeta omwana ne bamugamba ssente entono, anoonya eddala ng’alowooza nti erya ssente ennyingi lye likola obulungi.

AMAGEZI ABANTU GE BASAZE

Mathias Sekaggya ow’e Busaabala yagambye nti gye buvuddeko yalwaza omwana n’amutwala mu kalwaliro ku kyalo. Mu nsawo yalinamu emitwalo 5. Dokita yakebera omulwadde n’akizuula nti yalinamu yinfekisoni. Baamusaba emitwalo 20.

Okuva olwo, abaana abajjanjabira mu ddwaaliro ly’enkambi y’amagye e Makindye. Eno olina okugendayo ne densite y’eggwanga, kyokka obuzibu bakola ku Mmande na Lwakutaano kwokka.

Joan Nakiryowa ow’e Kamwokya yategeezezza nti okuva lwe baamuzigirira eddwaaliro lya KCCA ku City Hall, kimwanguyiza nnyo obulamu era eno gy’atwala abaana be abasatu.

Wadde ng’eddagala erimu bamugamba okulyegulira, tasaasaanya kinene nga bwe kyali mu malwaliro ag’obwannannyini.

Noryn Nalule, ow’e Kasubi yagambye nti ebisale by’amalwaliro ebyekanamye byamuwaliriza okuzaalira mu ddwaaliro lya KCCA mu Kisenyi. “Nawaayo 50,000/- ng’akasiimo era nakikola neeyagalidde.”

Noryn Nalule ow’e Kasubi, agamba nti olw’obuseere bw’amalwaliro g’obwannannyini, yasalawo kati azaalira mu lya KCCA ery’omu Kisenyi.

 

MINISITA AWABUDDE

Jane Ruth Acheng, minisita w’Ebyobulamu agambye nti gavumenti yaleeta eddembe abantu okukola bizinensi awatali kuyingirirwa.

N’awabula nti oli bw’aba tayagala kugenda mu malwaliro gye banaamuseera, agende mu ga gavumenti kubanga eno obujjanjabi bwa bwereere.

N’agattako nti waliyo n’agobwannannyini agataseera olw’okuba gafuna obuyambi bwe gavumenti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

UNEB ewadde abayizi wiiki 5...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ewadde abazadde n’abayizi omwezi gumu okusasula ssente z’ebigezo n’okwewandiisa okukola...

Trump ne Biden

Omugagga asasulidde abasibe...

OMUSAJJA bifeekeera, omu ku basinga obugagga mu Amerika akutte doola obukadde 16 n’asasulira abasibe 32,000 engassi...

Abawagizi ba Rukutana nga bajaganya

Engeri ebya Rukutana gye bi...

EBY’OBULULU bw’e Rushenyi bikyuse minisita Mwesigwa Rukutana bw’alangiddwa ng’eyawangudde akalulu k’essaza lino...

Omuyimbi Pia Pounds yeekokk...

Sheilah Gashumba kirabika kati ye yeekwatiramu mu kukuba ebifaananyi

Malokwezza ne mukazi nga bajaganya

Tofiri Malokweza (92): Ayog...

Bw’OLABA omuntu ow’emyaka 92 tolemwa kutendereza Katonda ate ng’eno bwe weebuuza ekyama kye ekimusobozesezza okuwangaala....